Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyobulamu kyaddaaki ekkirizza ab’enganda okuziika abantu baabwe ababeera bafudde Ssennyiga Corona.
Mu kusooka gavumenti yali yeddizza obuvunaanyizibwa bw’okuziika abantu bonna ababeera bafudde ekirwadde kino, era nga n’abantu batono ababadde bakkirizibwa kutuuka ku ntaana mu kaweefube w’okulwanyisa Corona.
Omubiri gw’omugenzi nagwo gubadde gulina kuweebwa abasawo abakugu okuguteekateeka nga bano be bagukwasa ttiimu y’abakugu eyateekebwawo okugiziika.
Omulimu gw’okuziika abafudde Corona gubadde gukolebwa ekitongole kya Red Cross era nga bano ekiragiro ekipya we kijjidde, nga bakaziika emirambo 50 mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Okusinziira ku biragiro ebipya ebyafulumiziddwa Minisitule y’ebyobulamu, kati ttiimu ezibadde ziziika zigenda kukola kimu kya kufuuyira mubiri gwa mugenzi n’oluvannyuma bamuteeke mu kisaawo ekiteekebwamu emirambo nga tebannagikwasa bang’anda.
Omwogezi w’ekitongole Red cross, Irene Nakasiita, ategeezezza ng’enteekateeka eno empya bw’ebadde yeetaagisa kubanga tebakysobola kusasula bisale byetaagisa okuziika abantu ababeera bafudde Corona.
Kamisona mu Minsitule y’ebyobulamu, George Okentho, yannyonnyodde nti ebiragiro ebipya byafulumiziddwa oluvannyuma lw’okukizuula nti ebisigalira by’omufu n’omulambo tebisobola kutambuza kirwadde kino.
Ensonga y’abasawo okuziika abafudde Corona ebadde eyogeza abantu obwama era ng’abakugu baavaayo nebalaga nga bwe watali bujulizi ku nsonga y’emibiri gy’abagenzi okutambuza ekirwadde kino.
Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation (WHO), kyategeeza nga bwe watali bujulizi bumala kulaga nti ekirwadde kino kisigala mu mibiri gy’abagenzi, wabula nekisaba abantu okusigala nga beegendereza.