Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo ekkiriza abayizi abalala okudda ku ssomero ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga 06 April, 2021. Okusinziira ku Minisitule, oluvannyuma lw’abayizi ba P.7 okumaliriza ebibuuzo byabwe, amasomero gafunye ebifo ebimala okukwasizaamu ebiragiro bya COVID-19 okusobola okutangira ekirwadde kino.
Kati aba P.4 ne P.5 bagattiddwa ku bayizi ba P.6 abaddayo omwezi oguwedde. Bo abayizi aba P.1, P.2 ne P.3 be bajja okusembayo okudda ku ssomero nga June 7, 2021.
Okusinziira ku nteekateeka eyafulumizibwa Omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’ebyenjigiriza, Alex Kakooza, yalaga nti olusoma lw’omwaka 2020 -2021 luggwa mu mwezi gwa July.
“Musabibwa okumanya nti olusoma lw’omwaka 2020 eri abayizi ba Pulayimale, ssekendule n’amatendekero agawaggulu luggwa mu July 2021. Oluvannyuma kalenda y’omwaka 2021 ejja kufulumizibwa era wajja kubaawo enteekateeka enaasobozesa abayizi okugattawo ku budde bwe bafiirwa era okuyisibwa kw’abayizi okugenda ku bibiina ebyenjawulo kijja kusinziira ku bujjumbize wamu n’okugezesebwa okubaweebwa mu bibiina.” Kakooza bwe yategeezezza.
Abaasooka okudda ku ssomero ng’amasomero gazzeemu kuliko aba P.6 ne S.3 ne S.5 nga March 1, 2021 era bano bakusomera Ssabbiiti 14 era bawummule nga May 21, 2021.
Aba P.4 ne P.5 bazzeemu nga April 6, 2021 oluvannyuma lwa P.7 okumaliriza ebibuuzo byayo. Bano bakusomera Ssabbiiti 8, bawummule nga June 4, kisobozese ab’ebibiina ebyawansi okuddamu okusoma. Aba P1, P.2 ne P.3 bakuddamu okusoma nga June 7, 2021 era nabo bakusomera wiiki 8 zokka era bawummule nga July 24, 2021.
Olwo S.1 bakutandika mu April 12, 2021 era basomere wiiki 14 zokka olwo bawummule nga July 3.
Bo abayizi aba S.2, bakuddamu okusoma nga May 31,2021 oluvannyuma lwa S.3 ne S.5 okuwummula era bano bakusomera wiiki 10 zokka okutuuka July 24,2021. Kati ekirindiriddwa kwe kulaba engeri amasomero gye gagenda okugobereramu ebiragiro ebitangira Ssennyiga Corona.