Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti eweze okunoonyereza ku bigambibwa nti kkampuni ez’enjawulo ezikola ku kuziika abafu zipaluusizza ebisale ku bantu ababeera bafudde COVID-19.
Bino bijjidde mu kiseera n’eggwanga liri mu kulwanagana n’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyazzeemu okulumba Uganda nga buli lukya omuwendo gw’abakwatibwa wamu n’abafa gweyongera.
Eggulo we bwazibidde ng’abantu 1100 be bakwatiddwa ate 49 nebafa ekituusizza omuwendo gw’abakwatiddwa ku 65,631 ate abafudde ne bawera 508 ate nga 48,648 bsimattuse.
Akulira akakiiko akalwanyisa ekirwadde kino mu ggwanga era omuwi w’amagezi eri Pulezidenti ku birwadde ebikambwe, Dr. Monica Musenero, agamba nti ekya kkampuni zino okusaba obuwanana kigenda kunoonyerezebwako.
“Ng’enda kunoonyereza ndabe, nafunye amawulire nti kkampuni eziziika zisaba obukadde 7 okusobola okuziika omuntu afudde Corona.” Dr. Musenero bw’annyonnyodde.
Ono agamba nti Minisitule y’ebyobulamu yayisa ebiragiro ebirina okugobererwa okuziika aba Corona naye mu byo temwali kyakuba nti ttiimu ey’enjawulo y’erina okuziika abafudde Corona.
Dr. Musenero annyonnyodde nti singa omulambo gubeera gukoleddwako bulungi ne gufuuyirwa, gusobola okuweebwa aba famire olwo nabo ne bafune engoye ezeesabikibwa ezimanyiddwa nga ‘ Personal Protective Equipment (PPE) olwo ne bagenda mu maaso n’okuziika.
Ono yalabudde abantu okwewala okukung’aanira mu kuziika mu bungi nti kino kisobola okuvaako okusaasaana kw’ekirwadde kino.