Bya Musasi waffe
Minisita avunaanyizibwa ku kuzimba mu gavumenti yawakati Joy Kafura Kabatsi agambye omuggalo ogwalangirirwa gavumenti emyezi ebiri emabega gubalemesezza okulambula ebizimbe eby’enjawulo ebizimbibwe okwetooloola eggwanga.
Kabatsi yabadde ayogerako eri Palamenti ng’annyonnyola kiki kyebakozeewo okulambula omutindo gw’ebizimbe oluvanyuma lw’akabenje akaagwawo sabbiiti bbiri emabega ekizimbe bwekyakuba nekitta abantu 14 wamu n’okulumya abalala bana.
Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga yasaba alipoota eno oluvannyuma lw’okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo nga beebuuza oba ddala ebizimbe bino birambulwa okulaba nti omutindo ogwateekebwawo gavumenti gugobererwa.
Kyokka Kabatsi yategeezezza nti abazzi b’ebikolobero bakozesezza akadde kano ak’omuggalo okukubirira ebizimbe nga tebagoberedde mitendera.
Kyokka yagambye nti gavumenti terina kyamaanyi kyeyinza kukola kubanga abo abalina okulambula ebizimbe bino bali waka olw’omuggalo.
Etteeka erifuga ebizimbe erya Building Act 2013 lissaawo boodi erina okwetegereza ebizimbibwa byonna muggwanga, kyokka Kabatsi yategeezezza nti abatuula ku boodi eno bonna bali waka.
“Bannange mutugumiikirizeeko ensonga zino zonna tugenda kuzikolako ng’omuggalo guwedde,” Kabatsi bweyagambye.
Uganda emaze ku muggalo okuva nga March 18 olw’ekirwadde kya Coronavirus ekyakakwata kati abantu 160.