Bya John Ssemakula
Kampala
Minisita omubeezi ow’ebyentambula, Joy Kabatsi, ategeezezza nti Pamiti empya tezigenda kubeera nnyangu kujingirira ng’abamu bwe balowooza kuba zikoleddwa nga za mutindo gwa waggulu nnyo nga si kyannyangu kuzicupula.
“Enkola ya Pamiti zino empya egenda kuyamba gavumenti ku bacupula ebintu ku Nasser, abacupuli kumpi buli kiwandiiko ne bamaliriza nga bakoze ebintu ebitali bya mutindo, ekintu ekifiiriza eggwanga ensimbi eziwerera ddala.” Minisita Kabatsi bw’agambye.
Minisita Kabatsi agambye nti gavumenti era yaakussa essira ku nkozesa y’enguudo kiyambe okukoma ku baddereeva abakozesa obubi enguudo.
Kamisona mu Minisitule y’ebyantambula, Winstone Katushabe, ategeezezza nti omuntu ayagala okuzza obupya Pamiti ye alina okusooka okusasula zonna ez’engassi ezibeera zimubangibwa okusobola okukendeeza ku nkozesa y’enguudo embi.
Katushabe agamba nti baddereeva balina omuze gw’okugaana okusasula ssente zino olwo ne baddamu okulabwako nga bakomyewo okuzza obuggya Pamiti zaabwe.
Mu nteekateeka empya aba Minisitule bagamba nti buli musango ddereeva gw’azza obubonero bw’alina bujja kuba bwetolako era kino kikoleddwa okukendeeza ku nkozesa y’enguudo embi.
Kinajjukirwa nti ku ntandikwa y’omwezi guno kkampuni ya ‘Uganda Security Printing Company (USPC)’ yaweebwa omulimu gw’okukuba Pamiti ne Paasipooti okuva ku kkampuni ya Face Technologies eya South Africa.