Bya Ssemakula John
Kampala
Eyali akulira ekibiina kya Forum for Democratic Change(FDC), Dr. Kizza Besigye agamba nti kisa kya Katonda kyokka kye kiyambye eggwanga COVID-19 kuba gavumenti ya kuno erowooza ku kintu kimu kyokka kulaba ngeri gye basobola okubbamu ssente za bannansi.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala leero ku Mmande, Besigye ategeezezza nti wakati ng’amawanga amalala ganoonya engeri gye gasobola okubbululamu ebyenfuna byabwe, Pulezidenti Museveni alowooza kimu ngeri gy’asobola kusiba bannayuganda katambaala asobole okubabinika omusolo.
“Amawanga agamu gali mu kutegeka, naye ffe tetulina kye tulaga. Entegeka zonna ze tulina zaakulaba ngeri gye tubbamu ssente. Obuwumbi bwa ssente butwaliddwa amaka g’obwapulezidenti okulwanyisa COVID-19 era akadde kano konna bannayuganda babadde basirise.” Besigye bw’agambye.
Besigye annyonnyodde nti gavumenti singa ebadde efaayo eri bannansi baayo, kye bandisookeddeko kwe kubateerawo ekittavvu ekisobola okubabbulula, ekitaliiwo wano.
“Omuntu abadde mu katyabaga ng’agezaako okusituka, ate ggwe n’otandkira ku kimu kya kwongeza musolo.” Besigye bw’agasseeko.
Besigye agamba nti gavumenti terina nteekateeka yonna eyinza kuyamba bannayuganda kuva mu mbeera gye balimu wakati ng’ebyabwe byonna byakosebwa ekirwadde kya COVID-19.
“Tuliwo ku lwa Katonda era nga Africa atulaze ekisa. Ekituufu kiri nti tuli ggwanga erisingamu abaana abato ate nga COVID-19 asinga kukosa bakadde kale bwetutyo ne tuwonera awo.” Besigye bw’agamba.
Okusinziira ku Besigye, abo abagamba nti avumirira gavumenti balina okutunula mu by’ayogera okulaba oba byabulimba.