• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Gavumenti eby’okuggulawo ebala kubbirako ssente – Dr. Besigye

Gambuuze by Gambuuze
November 1, 2021
in Amawulire
0 0
0
Gavumenti eby’okuggulawo ebala kubbirako ssente – Dr. Besigye
0
SHARES
42
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Eyali akulira ekibiina kya Forum for Democratic Change(FDC), Dr. Kizza Besigye agamba nti kisa kya Katonda kyokka kye kiyambye eggwanga COVID-19 kuba gavumenti ya kuno erowooza ku kintu kimu kyokka kulaba ngeri gye basobola okubbamu ssente za bannansi.

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala leero ku Mmande, Besigye ategeezezza nti wakati ng’amawanga amalala ganoonya engeri gye gasobola okubbululamu ebyenfuna byabwe, Pulezidenti Museveni alowooza kimu ngeri gy’asobola kusiba bannayuganda katambaala asobole okubabinika omusolo.

“Amawanga agamu gali mu kutegeka, naye ffe tetulina kye tulaga. Entegeka zonna ze tulina zaakulaba ngeri gye tubbamu ssente. Obuwumbi bwa ssente butwaliddwa amaka g’obwapulezidenti okulwanyisa COVID-19 era akadde kano konna bannayuganda babadde basirise.” Besigye bw’agambye.

Besigye annyonnyodde nti gavumenti singa ebadde efaayo eri bannansi baayo, kye bandisookeddeko kwe kubateerawo ekittavvu ekisobola okubabbulula, ekitaliiwo wano.

“Omuntu abadde mu katyabaga ng’agezaako okusituka, ate ggwe n’otandkira ku kimu  kya kwongeza musolo.” Besigye bw’agasseeko.

Besigye agamba nti gavumenti terina nteekateeka yonna eyinza kuyamba bannayuganda  kuva mu mbeera gye balimu wakati ng’ebyabwe byonna byakosebwa ekirwadde kya COVID-19.

“Tuliwo ku lwa Katonda era nga Africa atulaze ekisa. Ekituufu kiri nti tuli ggwanga erisingamu abaana abato ate nga COVID-19 asinga kukosa bakadde kale bwetutyo ne tuwonera awo.” Besigye bw’agamba.

Okusinziira ku Besigye, abo abagamba nti avumirira gavumenti balina okutunula mu by’ayogera okulaba oba byabulimba.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist