Bya Ssemakula John
Kampala
Munnamateeka Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu okuwakanya ennongoosereza gavumenti z’eyagala okukola ku kweyimirirwa kw’abantu ababeera bagambibwa okuzza emisanngo eminene.
Kyategeerekese nga kabineeti bwe yakkiriza ennongoosereza zikolebwe mu Ssemateeka wa 1995 ku mateeka agafuga ekitongole ekiramuzi, wamu ne poliisi, nga gavumenti ewakanya ekya bantu abavunaanibwa obutemu, okukwata abakazi, obubbi n’okulya mu nsi olukwe, okweyimirirwa.
Kati Mabiriizi addukidde mu kkooti ng’asaba etunule mu kya kabineeti okukkiriza ennongoosereza zikolebwe mu ddembe ly’abantu bonna okuba nga basobola okweyimirirwa, ky’agamba nti kyakoleddwa mu bukyamu era tebaagoberedde mitendera mituufu.
Mabiriizi agamba nti kikyamu Ssaabawolereza wa gavumenti ne Minisita abakuba ebirayiro okukuuma Ssemateeka, ate okuleeta etteeka eriggyako abantu eddembe lyabwe. Agattako nti ekirowoozo kino Kabineeti kye yawagidde kikyamu.
“Ssaabawolereza talina gwe yeebuuzizzaako? Kabineeti yakuba ebirayiro okukuuma Ssemateeka, terina lukusa kuleeta oba kwanjula biteeso ebigendereddwamu okuggyako bannansi eddembe lyabwe era kabineeti yabadde erina kusooka okwebuuza ku bakwatibwako ensonga eno.” Mabirizi bw’agambye.
Okusinziira ku Mabiriizi, ekirowoozo ky’okuggyawo okweyimirirwa kimenya mateeka era ayagala kkooti ekisazeemu era eby’okukola ennongoosereza zino biyimirizibwe mu bwangu.
Kati ono ayagala kkooti eyise ekiragiro ekigaana Palamenti oba omukungu wa gavumenti oba ekitongole kyonna okwesembereza ekiteeso kya kabineeti kino, kuba si kya bwenkanya era kijja kulinnyirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga, ekintu ekikyamu.