• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyobusubuuzi

Gavumenti bagikubye mu kkooti ku musolo gw’Obupangisa

Gambuuze by Gambuuze
September 7, 2020
in Ebyobusubuuzi
0 0
0
Gavumenti bagikubye mu kkooti ku musolo gw’Obupangisa
0
SHARES
195
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Bannakyewa bakubye gavumenti ya Uganda mu kkooti ku musolo Minisitule y’ebyenfuna gweyateeka ku mayumba agapangisibwa nga bagamba nti tebagoberera mateeka mukuguyisa.

Ennyumba z’abapangisa

Bano aba ‘The Open Forum Initiative (TOFI)’ omusango bagututte mu kkooti enkulu etawulula enkayana mu Kampala ku Mmande.

Bannakyewa balaze nga Minisita w’ebyensimbi bweyakozesa obubi obuyinza obumuweebwa etteeka ly’omusolo (Income Tax Act) era nga n’okugukuba mu kyapa kya gavumenti (Uganda Gazette) nga palamenti teguyisizza kyali kikyamu.

Bannakyewa bano bagambye nti,“Etteeka lino erilagira amayumba agapangisibwa okugyibwako omusolo lyayisibwa tebagoberedde mitendera mituufu mu palamenti nga bwekiragira mu mateeka.”

Banyonyodde nga etteeka lino ely’omusolo bweliragira okuteekawo ssente ezawansi ezirina okutandikirwako okusasulwa naye kino nakyo tekyakolebwa olw’okuba palamenti teyatuula kuteesa ku tteeka lino.

Wano webasinzidde okusaba kkooti esazeemu etteeka lino kubanga Minisita w’ebyensimbi okulikuba a mu kyapa (Uganda Gazzette) nga Palamenti temaze kuliyisa kyali kikyamu.

Bannakyewa bagala kkooti elagire ekitongole Ki ‘Uganda Revenue Authority (URA)’ obutateeka tteeka lino mu nkola kubanga liriwo mu bukyamu.

Omusolo gw’amayumba gwegwo omuntu gwasasula ku magoba ga ssente zakungaanya okumala omwaka ku bintu ebipangisibwa okukoleramu nga ennyumba, ettaka ne wofiisi.

Era nga omusolo guno gwa njawulo ku gwa bizineensi era nga gusasulwa omuntu oyo alina ebifo ebipangisibwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist