Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agamba nti gavumenti ye nneetegefu okutandika okufulumiza wano eddagala erigema endwadde ez’enjawulo nga mulimu ne COVID-19.
“Buli kimu kiwedde okuggyako ebirungo 18 ebyetaagibwa okukola eddagala erigema. Tulinako ebirungo ebimu naye ebirala tubadde tubirinze kati emyezi esatu okuva lwe twabitumya.” Museveni bw’agambye.
Okwogera bino, Pulezidenti abadde asisinkanye abakungu okuva mu Serum Africa Medical Research Institute (SAMRI) Limited nga bakulembeddwamu Prof. Francis Omaswa ne SAMRI Dr. Anand Iyer.
Wano gavumenti etadde omukono ku ndagaano n’ekitongole kino ekinoonyereza nga ku lwa Uganda, Minisita wa Science, Tekinologiya n’obuvumbuzi, Dr. Monica Musenero y’ataddeko omukono ate Prof. Francis Omaswa n’assaako ku lwa SAMRI.
Minisita Musenero ategeezezza nti alina essuubi nti aba SAMRI bajja kutuukiriza obweyamo bwabwe era kino Prof. Omaswa akikakasizza nga bwe beetegese ekimala.
Eddagala bano lye bagenda okukola ly’eryo eribadde ligulibwa e Bulaaya ku buwanana nga mulimu erigema; Tetanus, Diphtheria, Measles n’endwadde endala era baakulaba nti eddagala lino lituuka ku muntu asembayo mu byalo okulyetaaga.
Ssenkulu w’ekitongole kino ekya SAMRI, Dr. Anand Iyer abikkudde ekyama nga bwe balina obusobozi okukola eddagala ly’omusujja gw’ensiri awamu n’erya COVID-19.
Ono annyonnyodde nti baakuteekawo etterekero ery’omulembe okukuuma eddagala lino era n’akakasa nti kino kigenda kukyusa ebyobulamu mu ggwanga.