Bya Stephen Kulubasi
Masengere
Omu ku batunuulizi b’ensonga, Alex Mukulu, asabye gavumenti bannayuganda bonna ebawe ssente kubanga ekirwadde kino awamu n’omuggalo, bannayuganda bonna gubakosezza kyenkanyi nga kibeera kikyamu okutandika okubasosolamu.
“Baleme kugamba nti waliwo abeetaaga ssente n’abatazeetaaga. Ffenna tulina obwetaavu bwa ssente lwakuba abamu twekaza bwekaza. Abagagga bali Mulago balwadde beetaaga ssente za bujjanjabi. Ne bw’oba olina ky’okola kimu oba ng’olina bbiizineesi endala era yakosebwa kati ani atali mu bwetaavu bwa ssente.” Mukulu bwe yategeezezza ng’awayaamu n’omukutu gwa Gambuuze.
Ono era yakubye ebituli mu nteekateeka ya gavumenti ey’okugaba emmere nga bwe gwali ku muggalo oguwedde nti, tesobola kubaako ky’amaanyi kyeyamba kuba kizibu okugaba emmere abantu bonna ne bafuna kuba ennyumba mu Uganda tezirina ndagiriro.
Mukulu yayongeddeko nti kizibu okulondamu ani gw’ogenda okuwa ne gw’otagenda kuwa kubanga abamu bayinza n’okulimba endagiriro yaabwe. Ono era yagambye nti ku mulundi guli abantu bangi naddala ab’ebikomera tebaafuna mmere ekintu ekyabaleka nga bayala olw’okuba balabibwa nga abeesobola.
Ono era awakanya ekya gavumenti okuteeka abayimbi mu bantu abeetaaga okuyambibwako ng’agamba nti abasinga ku bano beesobola era balina okuyiiya engeri gye bava mu kusoomoozebwa kwe balimu so si kusuubira gavumenti kubavujjigirira.
Alex Mukulu era ayambalidde gavumenti olw’enjawukana mu bayimbi ng’agamba nti yaddira ensonga z’abayimbi ne ziteekamu ebyobufuzi, ekintu ekigenda okudobonkanya ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga.
Mukulu era asabye gavumenti okwanguya enteekateeka y’okugema bannayuganda kiyambe okutaasa bannayuganda abagenda mu maaso n’okukwatibwa ekirwadde kino.