
Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kirabudde Pulezidenti Yoweri Museveni okukomya okuzannya ebyobufuzi ng’anoonya obuganzi mu bantu bw’aba ayagala okugonjoola ebizibu ebiri ku ttaka mu ggwanga.
Okulabula kuno kwakoleddwa omwogezi w’ekibiina kya FDC ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande n’agamba nti ebigambo ebiva mu gavumenti bireetawo obukenke n’obutali butebenkevu.
“Museveni akomye okuleeta ebyobufuzi mu nsonga z’ettaka. Ebigambo bye yayogedde eri abakulira ekibiina kya NRM ku nsonga za Mayiro n’okutegeeza nti ekitongole kya Buganda Land Board kiriwo mu bukyamu, biyinza okutabangula eggwanga era ajja kuwaliriza abantu okumenya amateeka singa takomye bigambo nga bino.” Ssemujju Nganda bwe yagambye.
Ssemujju yagambye nti Uganda lwe yasooka okubala abantu mu 1969 baali obukadde 9.5 ate mu 1980 abaabalibwa baali 12.6 ate mu 1991 abantu baali obukadde 16.6.
Ono yannyonnyodde nti mu 2014, abantu baali 34.6 era baali beeyongerera ku bitundu 3 buli mwaka, nga kati tuwera obukadde 44.
Okusinziira ku FDC, abantu beeyongedde naye bw’ogattako n’abanene mu gavumenti abakozesa eryanyi okugoba abantu ku ttaka, embeera n’ejabagira.
“Museveni yekka alina ettaka lya byalo munaana e Gomba gy’alina ffaamu y’e Kisozi, ettaka lino teyalirina emyaka nga tannajja mu buyinza. Museveni alina okubeera ekyokulabirako, atandikire ku kyakugabanya ffaamu y’e Rwakitura n’e Kisozi aliwe abatalina ttaka.” Ssemujju bwe yasabye.
Ssemujju agamba nti eky’okuddamu kiri mu kutandikawo makolero awamu n’ebintu ebirala abantu mwe basobola okuggya emirimu baleme kwesiba ku kimu kyakunoonya we balimira awamu ne we bayinza okulundira.
Bino we bijjidde nga gavumenti yavaayo n’eraga nga bw’eyagala okukola ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka naddala erya mayiro nga Pulezidenti Yoweri Museveni agamba nti lino lye lisinze okuvaako emivuyo gy’ebyattaka mu ggwanga.









