Bya Ssemakula John
Najjanankumbi
Bannakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) bawakkanyizza ssente gavumenti zeyataddewo okusasuza abantu abaagala okubakebera COVID-19 nti tekiraga kufaayo ku bannansi.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/Fungaroo-Hassan1.jpg)
Amyuka omukunzi w’ekibiina ki FDC Hassan Kaps Fungaroo bino yategeezezza bannamawulire leero ku Mmande wali ku kitebe e Najjanankumbi.
Eggulo Minisitule y’ebyobulamu yalangiridde nti, okutandika nga 1 September 2020 buli muntu anaakeberwa ekirwadde ki COVID-19 agenda kusasula emitwalo 24 mu bitaano (240500) zino ze ddoola z’ Amerika 65 buli kwekebeza.
Minisitule egamba kino bakikoze okukendeeza ku kazito kebalina mu by’ensimbi kubanga buli lunaku abaagala okubakebera beeyongera.
Fungaroo yategeezezza nti zino ssente nyingi nnyo ku bantu naddala mu mbeera eno nga abasinga babadde tebakyakola.
“Abantu abeekebeza ssi bebafunamu wabula bakikola lwa bulungi bwa ffenna. Bwaba Museveni asobola okufuna ssente ezigulira ba ssentebe ba NRM obuggaali, lwaki takozesa ezimu ku ssente zino nawaayo okugula ebikozesebwa okukebera ffenna netufunamu,” Bwatyo Fungaroo bweyemulugunyizza.
Wabula Minisitule y’ebyobulamu yavuddeyo netangaaza olunaku lw’eggulo nga bwejja okusimala nga ekebera ku bwerere abantu abanaaba basangiddwa n’obubonero bwa COVID-19, ababaddeko n’abalwadde wamu naabo abali ku mwanjo nga abasawo abajjanjaba ekirwadde kino.
Mu ngeri yeemu Fungaroo yasinzidde mu lukungaana luno natabukira gavumenti n’ebitongole bye by’okwerinda olw’okulemesa Opozisoni okukuba enkungaana kyokka nga akalulu ka 2021 katuuse.
Fungaroo yagambye nti, “Munnaffe Omubaka wa Nakaseke South mu Palamenti Luttamaguzi Ssemakula ali mu komera lwa kumenya biragiro bya COVID-19 naye ate tulina baminisita n’abakungu ba gavumenti abakuba enkungaana n’okuyisa ebivvulu nga tewali abakomako.”