Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kirangiridde nga bwe kigenda okukola ku bannakibiina abaajeemera ssemateeka waakyo ne beesimbawo ku bwannamunigina mu kalulu akawedde aka 2021 awamu n’abo abaakivaamu ne bagenda mu bibiina ebirala.
Kino kirangiriddwa Pulezidenti w’ekibiina kino, Patrick Oboi Amuriat, n’agamba nti abamu abalina ebifo mu kibiina naye nga baayimirirawo ku bwannamunigina awamu n’abo abeegasse ku bibiina ebirala bagenda kubasikiza abalala.
“FDC, tewali muntu gwe tutasobola kusikiza kuba twakizimbira ku ntuuyo n’omusaayi gwa bannayuganda abaagala enkyukakyuka. Tuli kibiina ekiremera ku nsonga tetwalagala bituwugula. Mu lugendo luno obeera naffe oba n’otweyawulako naye tewali agenda kutulemesa kutambula.” Amuriat bwe yagambye.
Kino kiddiridde abamu ku bannakibiina okulondebwa ebibiina ebirala mu buvunaanyizibwa obwenjawulo mu gavumenti ey’ekisiikirize awamu n’Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo okulondebwa nga Minisita omubeezi ow’ebyamawulire ne Tekinologiya.
Ono yannyonnyodde nti ekibiina kikooye abantu abatakigasa nga kino kye kiseera okukizza obuggya nga balekamu abo bokka abali ku mulamwa.
Ku nsonga y’abo abaalondebwa mu gavumenti eyeekisikirize mu Palamenti, Oboi agamba nti baalina okwebuuzibwako ng’ekibiina era n’alabula abaalondeddwa kukkiriza ebifo bino.
Pulezidenti Amuriat era yasabye gavumenti okwongera ku muwendo gw’abantu abalina okufuna ssente z’obuyambi olwa COVID-19 kuba ssente ntono nnyo ate ng’abantu balina ebizibu ebiwerako.