Bya Musasi Waffe
Kampala
Omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti y’e 11, Mathias Mpuuga Nsamba, atabukidde ab’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) n’abasaba bakomye okwekwasa ekibiina kya National Unity Platform (NUP) ku by’okuwangulwa ku bwasipiika.
Kino kiddiridde omubaka Ssemujju Nganda eyavuganyizza ku bwasipiika ne yavuganyizza ku bumyuka bwa Sipiika, Yusuf Nsibambi, okulumiriza aba NUP okukwatagana n’ekibiina kya NRM mu kulonda kuno.
Owek. Mpuuga agamba nti oluvannyuma lw’okulemwa akalulu kati FDC esazeewo kwekwasa kibiina kya NUP.
“FDC emanyi bulungi ekituufu ekyatuukawo naye kati baasazeewo kwekwasa NUP kuba n’abantu baabwe bennyini tebaabalonda, basazeewo obutabeera baamazima.” Owek. Mpuuga bw’ategeezezza bannamawulire.
Owek. Mpuuga agasseeko nti Ssemujju naba FDC balina okumanya nti mu maaso gye tulaga bweba tebeekakasa kukola kimu waakiri bakireke mu kifo ky’okwekwasa abalala.
Mu kulonda kuno Ssemujju yafunye obululu 15 bwokka mu kalulu akaawanguddwa Jacob Oulanyah n’addirirwa Rebecca Kadaga.
Mpuuga agamba nti tebakkaanyangako nga NUP kubaako muntu wa NRM yenna nga FDC bw’ebijweteka.