Bya Ronald Mukasa
Najjanankumbi – Busiro
Abavunaanyizibwa ku by’okulonda ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi balangiridde muwala w’omugenzi Cecilia Ogwala, Rosemary Alwoc Ogwal okuddira nnyina mu bigere ng’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Dokolo.
Abakulu bano baasisinkanye ab’enju y’omugenzi nebakkaanya ku ky’okuwagira Alwoc okuvuganyiza ku kkaadi ya FDC asobole okudda mu bigere bya Nnyina eyafa ku nkomerero y’omwezi oguwedde.
Bano era balungamiza Alwoc ku ntambula y’ebyobufuzi wano muggwanga wamu n’emiramwa gy’ ekibiina ki FDC kubanga ono aludde nga awangalira mitala wamayanja.
Kino kiddiridde ebigambo okuyiting’ana nga Alwoc bwagenda okwesimbawo ku kaadi ya NRM oba okujja kubwanamunigina mukulonda kuno wabula FDC e kakasiza nga NRM ne UPC bwebatukirirako omukyala ono wabula nasalawo okwesimbawo ku kaadi ya FDC okusobola okukuuma obukulembeza bw’omugenzi Cecilia Ogwal.
Omwogezi wa FDC John Kikonyogo ategeezezza nga okusalawo kwa Alwoc okuvuganya ku kkaadi ya FDC bwekwoleka lwattu nti ono Munna FDC lukulwe era asobola okukireetera obuwanguzi.