• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

FDC egaanye okwetaba mu lukung’aana lwa IPOD

Gambuuze by Gambuuze
March 3, 2021
in Amawulire
0 0
0
FDC egaanye okwetaba mu lukung’aana lwa IPOD
0
SHARES
35
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Abakulembeze b’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), bawandiikidde abakulembeze b’omukago ogutaba ebibiina by’obufuzi ebiri mu Palamenti ogwa Inter party Organisation for Dialogue (IPOD)  ne kiwa ensonga lwaki tekigenda kwetaba mu lukung’aana lw’omukago guno  ogubindabinda.

Ssaabawandiisi wa FDC, Nandala Mafabi

Ku Lwokutaano lwa Ssabbiiti eno, Pulezidenti Yoweri Museveni era akulira ekibiina kya NRM asuubirwa okukubiriza olutuula lwa IPOD mu kiti kye ekya ssentebe wa NRM. Endagaano eyakolebwa mu mukago guno n’eteekebwako omukono ebibiina okuli; DP, FDC, JEEMA, NRM ne UPC, eragira omukago guno okutuula buli luvannyuma lwa myezi mukaaga.

Ensisinkano y’omulundi guno yaakubeera ku kisaawe e Kololo wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Okutabaganya eggwanga.”

Mu bbaluwa aba FDC gye bawandiise ng’eriko omukono gwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Nathan Nandala Mafabi, yagambye nti bakyekenneenya ebyava mu kulonda kuba byalimu ebirumira.

“Nga bwe mumanyi twakava mu kalulu akaavulugibwa akakiiko k’ebyokulonda nga bayambibwako ebitongole by’okwerinda okuli amagye ne poliisi.” Nandala bwe yategeezezza.

“Tutegeezeddwa nti mwagala kutegeka lukung’aana awatali kukkiriza bibiina kutuula munda mu byo kukkaanya ku ebyo ebirina okuteesebwako nga bwe kirina okubeera. Ffe tulowooza nti IPOD yandisoose kukuba ttooci mu byava mu kalulu ka 2021 kuba kaalimu vvulugu mungi.” Nandala bwe yagasseeko.

Mafabi yannyonnyodde nti okusinziira ku kyamanyi, omukago gwa IPOD gutuula nga kkanso yaayo erina omukiise okuva mu buli kibiina, bamaze  okukkaanya ku ebyo ebigenda okuteesebwako.

“Ffe nga FDC tulina okusooka okwebuuza ku bakulu mu kibiina. Ekibiina ekyaffe si kya muntu omu, tulina okusooka okukkaanya ku nsonga. Tetujja kwetaba mu lukung’aana luno olutegekeddwa mu bwangu nga n’ebyo ebigenda okuteesebwako tetusoose bikkaanyako.” Mafabi bwe yalambuludde.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist