Bya Noah Kintu
Ssembabule
Wabaluseewo obunkenke mu ssaza lya Mawogola oluvannyuma lwa munnabyabufuzi eyawangula akamyufu k’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Dez Byuma Aswaldo okuzuulibwamu ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Byuma ye muntu owookubiri mu kitundu ky’e Ssembabule okusangibwamu ekirwadde kino ng’eyasooka yazuulibwa Ssabiiti ssatu emabega naye abakugu nebagaana okwatuukiriza amannya ge wabula nga yatwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka n’asobola okujjanjabibwa.
Ono atutegeezezza nti avuddeyo mu lwatu asobola okutaasa abantu abalala ababadde balowooza nti ekirwadde kino tekiriiyo naddala mu Ssembabule, bagolokeke basobole okukyekuuma.
Byuma annyonnyodde omukutu guno ogwa Gambuuze nti yakeberebwa ku Ssande ng’ennaku z’omwezi 12/10/2020 n’asangibwa ng’alina Corona wabula nga kizibu okuteebereza gy’ayinza okuba nga gye yakaggya era nga yatwaliddwa mu ddwaliro enkulu e Mulago asobole okujjanjabwa.
Ono agambye nti okunoonya akalulu mu kiseera kino akuvuddeko okumala omwezi mulamba ng’abawagizi be balese okusigala nga bamukolera kakuyege nga bw’alinda embeera ye okutereera. Asabye abantu mu kitundu kino okugenda beekebeze kubanga okusinziira ku biriwo ekirwadde kino kirabika kisaasaanye mu kitundu ky’e Ssembabule
Kaweefube waffe okwogerako n’akulira eby’obulamu mu Ssembabule, Charles Matovu, agudde butaka oluvannyuma lw’okutuuka mu woofiisi ye nga taliimu ate nga n’essimu ze ezimanyiddwa tazikwata.
Bo abatuuze mu kitundu Byuma ky’ayagala okukiikirira basabye gavumenti ne poliisi okwongera okunyweza mu mateeka gaayo kitaase abantu ekirwadde kino kuba abantu batuuse okusaanawo.
Kinajjukirwa nti, bannabyabufuzi mu kitundu kino baali bajeemera poliisi nebagenda mu maaso n’okukung’aanya abantu awamu n’okukuba enkung’aana ez’abantu n’okuyisa ebivvulu ekintu, ekiteeka obulamu bwa bawagizi baabwe mu matigga.