Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo akalaatidde abantu ba kabaka abali mu mulimu gw’okuweesa okugwongerako omutindo ng’amawanga amalala, olwo ensi Buganda ekulaakulane ng’abedda bwe baaluubirira.
Prof. Kaawaase bino abyogeredde ku Mbuga ya Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye omusomesa okuva ku ssetendekero wa Makerere Dr. Nsereko Joseph Raymond ayanjulidde Obwakabaka ekitabo ekiyitibwa “Obukugu bw’abaweesi mu Buganda” ekinnyonnyola gyenvudde w’omulimu gw’okuweesa mu Buganda.
Oweek. Kaawaase yeebazizza Dr. Raymond Nsereko olw’omulimu omulungi gw’akoze era bwatyo n’akalaatira abantu abaweesa okwongera omutindo ku mulimu guno okuggyayo ekifaananyi ekituufu abazira ba Buganda abasooka kye baayagala okuggyayo nga bakola ebintu eby’enjawulo ebyasobola okubeezawo Obwakabaka n’abantu baabwo mu kaseera nga ebitundu ebirala byali birafubaana okufuna ebiyimirizaawo abantu baabyo.
“Wetutuukidde olwa leero nga omulimu gw’okuweesa abantu ba Kabaka abasinga baagwesamba olw’okubulwa ababalambika enkozesa ya tekinologiya okugwongerako omutindo,” Oweek. Kaawaase.
Oweek. Kaawaase asanyukidde omulimu guno ogw’ettendo ogukoleddwa Dr. Nsereko n’agamba nti wakutwalayo kkopi z’ekitabo kino ku matendekero g’Obwakabaka gonna olw’okuba nti Obwakabaka busoosoowaza nnyo abayizi okukozesa amagezi amazaale n’ebyemikono okutandikawo emirimu egibayimirizaawo nga bamaliriza emisomo gyabwe.

Ye Dr. Raymond Nsereko agamba nti yawaliriziddwa okukola okunonyereza ku mulimu gw’okuweesa mu Buganda era n’awandiika ekitabo kino ky’asuubira nti kijja kuyambako nnyo emijiji egijja mu maaso okulabira ku bitundu nga Katwe okuddamu okusitula omulimu ogw’obuweesa okwetooloola Buganda yonna.
“Omulimu gw’okuweesa wano mu Buganda gwava dda era ab’ekika ky’ente baamanyika nnyo mu ggwo mwe baweesezanga ebiso, amafumu, obwambe n’ebirala era byayambako nnyo okugaziya ensalo za Buganda n’okulwana n’abalabe abaali bagezaako okutabaala Obwakabaka,” Dr. Nsereko.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu n’Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa.









