
Bya Ssemakula John
Busoga
Poliisi e Busoga etandise okuyigga omuvubuka Waiswa Katende agambibwa okutemula omwana John Isabirye ow’emyaka 7 oluvannyuma lw’abazadde be okulemererwa okumuwa obukadde 50 zeyabadde asabye amubaddize.
Kigambibwa nti Waiswa yawamba Isabirye okuva mu maka g’abazdde be agasangibwa e Bulyango ku Lwomukaaga ekiro. Oluvannyuma yatandika okukubira bazadde be amasimu nga abalagira okusasula nga essaawa 6 ez’ekiro tezinawera oba sikyo yali agenda kumutta.
Byeyazudde nti balemereddwa okumuwa obukadde 50, yabasabye bamuweereze emitwalo 8 ababuulire weyabadde atadde omwana ono.
Kigambibwa nti Katende yakubidde kitaawe wa Isabirye, Robert Isabirye namubuulira waali n’oluvannyuma naggyako essimu ze.
Isabirye yasangiddwa attiddwa ng’omulambo gwe bagusudde mu samba y’ebikajjo ku kyalo Mutukula mu ggombolola ye Namwendwa mu disitulikiti ye Kamuli.
Omulambo gwaggyiddwayo egutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Kamuli. Isabirye yategeezezza bannamawulire nti Waiswa abadde abeera ku kyalo kya Mutukula ekibarilaanye era nga Kasitoama ku dduuka lye ng’eno y’engeri gyeyamanyamu omwana we.
Ayogerera Poliisi mukitundu kya Busoga North, Micheal Kasadha agamba nti omuyiggo gwa Waiswa gugenda mu maaso era bakwataganye n’ebitongole bya gavumenti ebirala.
Kasadha annyonnyodde nti Waiswa agenda kuvunaanibwa emisango 2 okuli ogw’okuwamba omuntu awamu n’okumutemula.









