Bya Musasi Waffe
Munnamagye eyawambye obuyinza e Burkina Faso, Ibrahim Traore alayiziddwa nga pulezidenti omuggya ow’eggwanga eryo oluvannyuma lw’okuwamba eyali mukama we Paul-Henri Sandaogo Damiba.
Kino kiddiridde okuwamba obuyinza obwali mu ggwanga eryo wiiki ewedde.
Ekiwandiiko ekisomeddwa ku ttiivi y’eggwanga lino, Traore agambye nti era kati ye mudduumizi w’amagye ow’oku ntikko.
Guno gwe mulundi ogw’okubiri omwaka guno, nga bannamagye bawamba obuyinza mu ggwanga eryo nga bagamba nti obukulembeze obubaddeko bwalemeddwa okukola ku bannalukalala abayisiraamu abatigomya bannansi mu ggwanga lino.
Bino webijjidde nga waliwo ekibinja ekyavudde mu mukago ogutaba amawanga mukitundu kino ogwa ECOWAS ekyatuuse mu ggwanga eryo ku Lwokubiri okusikiriza Traore okutegeka okulonda mu makati g’omwaka gwa 2024 wabula kati tekimanyiddwa oba kino anaakikola.