Munnamagye ga UPDF era nga yavuganyaako ku ntebe y’obwa pulezidenti mu 2016, Gen. Benon Biraro afudde.
Biraro, abadde ajjanjabibwa ekirwadde kya kansa afiiridde mu ddwaliro lya Kampala hospital enkya yaleero.
Ono abadde amaze akabanga ng’ali ku ndiri era eb’enjuye bategeeza gyebuvuddeko nti baali banonya ssente ku mutwala mitala wa Mayanja okusobola okufuna obujjanjjabi obusingako.