Eyavuganyaako ku ntebe w’obwapulezidenti mu kulonda okuwedde era nga yaliko omumyuka wa Ssenkulu wa ssettendekero w’e Makerere, Prof. Venansius Baryamureeba wosomera bino nga ali mabega wa mitayimbwa oluvannyuma lw’okutomera omuntu n’amuttirawo.
Ayogerera Poliisi ya Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye Baryamureeba akuumirwa ku Pollisi e Kabalagala.
Ono abadde avuga emmotoka eriko ennamba ‘U’ yayingiridde ekibinja kya bakyala nattirawo omu.
Akabenje kano kaguddewo leero kussaawa nga musanvu ez’emisana ku luguudo olugenda e Kibuli okuliraana enkulungo y’e Muyenga.
Eyattiddwa ategeerekeseeko nga Mariam Gyagenda era omulambo gwe gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago.
“Mariam Namusoke naye alumiziddwa nnyo era ajjanjjabibwa mu ddwaliro e Mulago,” Oweyesigyire bwagambye.
Kigambibwa nti Baryamureeba abadde adduka ndiima akabenje kano wakagwiriddewo.
Emmotoka ye etwaliddwa ku poliisi esobole okwekebejjebwa okulaba oba ebadde mu mbeera nnungi.