Poliisi y’e Naggalama ekutte omusajja gweteebereza okuba nti yeyatemudde munne ow’emyaka 20, olwenkaayana kuttaka mu ggombolola y’e Naggoje mu disitulikiti y’e Mukono.
Ayogerera Poliisi ya Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye omukwate ye Hassan Kiwanuka.
Kiwanuka kiteeberezebwa yatta Matia Gimmony nga June 30 oluvannyuma naamalamu omusubi.
Kigambibwa nti Kiwanuka yatta Gimmony oluvannyuma lw’enkayana wakati wa taata w’e [Gimmony] ne Kiwanuka nga ziva ku poloti.
Abatuuze baagezaako okutaasa Gimmony nga bamuddusa mu ddwaliro e Kawolo wabula kino tekyasoboka.
Oluvanyuma lw’okufa kwa Gimmony, abatuuze bakkakkana ku nnyumba ya Kiwanuka nabagikuba nebagisanyaawo.
Ono kati agenda ku twalibwa mu kkooti gyenaggulwako ogw’obutemu.
URN