Kitgum
Nnannyini nnyumba ab’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) kwe baali baapangisa okuteeka woofiisi zaabwe, abaddiza ssente zaabwe ng’alumiriza nti akooye ab’ebitongole by’ebyokwerinda okumutiisatiisa.
Kigambibwa nti aba NUP mu kibuga ky’e Kitgum mu divizoni ya Pandwong baali baasasula emitwalo 40 eri Bosco Oloya Oboni mu mwezi Gwomunaana nga zino zaali za myezi esatu.
Okusinziira ku bakulu mu kibiina kya NUP, woofiisi zino babadde bagenda kuzikozesa okutumbula ekibiina mu bitundu by’e Kitgum, Lamwo, Pader ne Agago wakati nga beetegera akalulu ka 2021.
Olunaku woofiisi zino lwe zaalina okuggulwawo tekyasoboka era nga ab’ebyokwerinda baaziteekako ekkufulu n’okutuusa essaawa ya leero nga bagamba nti aba NUP baali tebasabye lukkusa.
Landiroodi Oboni yategeezezza omukutu gwa URN, nti yawaliriziddwa okuzzaayo ssente ng’abeebyokwerinda basusse okumutiisatiisa.
“Mbaddiza ssente zaabwe kubanga ab’ebyokwerinda baagaana okuggulawo ennyumba zange ate nze ng’omuntu wa wansi sisobola kusika muguwa n’abeebyokwerinda ku nsonga eno,” Oboni bw’agambye.
Oboni agambye nti ku lw’obulamu bwe asazeewo ekizimbe tajja kukipangisa kibiina kyonna era ng’agenda kuddamu okusinga ekizimbe kye akiggyeko langi ya NUP.
Ono era alumiriza abakulira Munisipaali ye Kitgum okumuteekako akazito nga bagamba nti ekizimbe yabadde akikozeseza mu ngeri etakkaanyizibwako.
Omukwanaganya wa NUP mu kitundu kino, Samuel Obedgui, agambye nti kituufu kubanga bakyalemeddwa okufuna we bateeka woofiisi zaabwe kuba buli we batuuka abantu babajuliza babyakwerinda.
Bino ttawuni kiraaka w’e Kitgum Emmanuel Banya ategeezezza URN nti bino awulira bipya. Wadde yakkiriza nti kituufu aba Munisipo Kkanso batera okuwandiikira bannannyini bizimbe nga babalambika ku nkozesa yaabyo.
Agasseeko nti Oboni y’omu ku bantu abalina ebizimbe nga babikozesa wabula nga tebannafuna pamiti zaabyo.
Okusinziira ku tteeka erirambika enkozesa y’ebizimbe erya ‘Building Control (fees) Regulations 2020,’ liraga nti omuntu yenna nga tannakozesa kizimbe alina okusooka okufuna pamiti eraga ky’alina okukoleramu.
Omubaka wa Pulezidenti mu kitundu kino, William Komakech agambye nti Oboni tannatiisibwatiisibwako era nga tewali nsonga lwaki bamutiisatiisa.
Bya URN