![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/07/Twahir-1024x1024.png)
Poliisi mu kibuga Jinja ekutte maneja wa leediyo ya Baba FM Twahir Ddamulira oluvannyuma lw’okukyaza omubaka w’e Kyaddondo ey’obuvanjuba Robert Kyagulanyi amayiddwa ennyo nga Bobi Wine.
Poliisi yali yagaana Kyagulanyi okubeera ku leediyo kyokka Ddamulira nakkiriza okumukyaza nga July 18 ku pulogulaamu emanyiddwa nga ‘Council Yaiffe.’
Woosomera bino nga Ddamulira ali ku poliisi ye Nalufenya oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’ajjibwa mu makaage e Walukuba.
Ono yagaaniddwa okulabwa ab’engandaze wamu ne bannamateekaabe.
Bannamawulire baakadde kweyiwa ku kitebe kino okuzuula kiki ekyatuuse ku munnabwe kyokka bano baagaaniddwa okuyingira ng’abasirikale babagamba basooke bafune olukusa okuva eri ayogerera poliisi mu ggwanga Fred Enanga.
Omusirikale ataayagadde kwatuukirizibwa mannya kubanga simwogezi wa poliisi yategeezezza nti Ddamulira yaleeteddwa ku poliisi eggulo ekiro kyokka nga negyebuli eno tannaba kuwandiika sitatimenti yadde okubaako kyalya.
“Bakama baffe batya okubaako omusango gwebamuggulako,” omusirikale ono bweyategeezezza.
Albert Amula, akulira emikutu gya Baba egy’amawulire yategezezza nti yasisinkayeemu n’atwala Poliisi mu kitundu Dauda Higira eyamutegeezezza nti naye tamanyi kyakwasizza Ddamulira.
Kyokka Higira yagaanye okubaako kyayogera bweyatuukiriddwa.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kye Kiira, Abbey Ngako yakakasizza okukwatibwa kwa Ddamulira n’abantu abalala bataano bataayatuukirizza mannya.
URN