Bya Musasi Waffe
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kalangala, Ssemaka eyakwatiddwa ku by’okujeemera ebiragiro bya Kaafyu bwabuuse ku kabangali ya Poliisi naggwa naafiirawo.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Crime-scene-tape1.jpg)
Eyafudde ye Mike Ssenyomo ow’emyaka 37, nga mutuuze ku mwalo gwe Mulabana mu ggombolola ye Bujumba mu disitulikiti ye Kalangala.
Ssenyomo yafudde ku Lwakusatu ekiro, nga bamukwatidde mu bikwekweto poliisi byeyakoze okufuuza abajeemera ebiragiro bya COVID-19 naddala eby’okutambula ekiro mu budde bwa Kaafyu.
Akulira Poliisi ye Kalangala Benon Byamukama yagambye nti, Ssenyomo yakwatiddwa wamu n’abalala nebateekebwa ku Kabangali ya poliisi okutwalibwa ku poliisi enkulu e Kalangala kyokka nagezaako okutoloka nga abuuka ku mmotoka eno.
Byamukama yagasseeko nti, ono alabika yagudde bubi ekyamuviriddeko okufa wabula nga bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza okuzuula ekyamuviriddeko okufa.
Mukwano gw’omugenzi Moses Waliggo, yategeezezza nti baddereeva b’emmotoka za poliisi basukka okuvuga endiima nga batwala abakwatiddwa nga kino kye kyavuddeko munne okufa.
Ssenyomo ye muntu ow’okubiri okufiira mu mbeera bweti e Kalangala nga poliisi ekwasisa amateeka ga COVID-19 mu bbanga lya wiiki.
Kinajjukirwa nti, nga 14/09/2020 omukozi mu binazii e Bwendero Laban Asiimwe yatomerwa emmotoka ya poliisi eyali emugoba olw’okutambula mu budde bwa kaafyu.