Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi enoonyereza ku buzzi bw’emisango ekutte omusajja agambibwa okuba nti y’akulira ekibinja ky’ababbira ku boodabooda nga bano be baalumba omulamuzi wa kkooti esookerwako eya Buganda Road, Gladys Kamasanyu.
Kinajjukirwa nti omwezi oguwedde omulamuzi Kamasanyu yalumbibwa wabweru wa ggeeti y’essomero lya Green Hill Academy gye yali agenze okunona ebyavudde mu bibuuzo by’omwana we ebya PLE nga wano we baamukubira n’agwa wansi ne bamubbako ensawo, essimu awamu n’ebintu ebirala.
Ku Mmande, omwogezi wa poliisi mu Kampala, Fred Enanga yategeezezza bannamawulire nti baasobodde okulondoola Brian Mulinzi agambibwa okukulira akabinja kano era ne bamukwatira e Mbale gy’abadde yeekukumye.
Enanga yagambye nti wadde ono abadde yagezaako okwekweka naye basobodde okumugoberera nga bakozesa kkamera zaabwe wamu ne tekinologiya ow’omulembe.
Okusinziira ku Enanga, ono oluvannyuma lw’okumukunya yakkiriza nti omulamuzi Kamasanyu bamulondoola okuviira ddala mu Ndeeba okutuuka ku ssomero lino e Kibuli gyebamukubira n’okumubba.
Mu ngeri yeemu boodabooda eyakwatibwa ku kkamera za poliisi ng’erondoola omulamuzi Kamasanyu yasangiddwa e Buloba era ng’eno yeyasobodde okubatuusa ku Mulinzi.
Okusinziira ku poliisi, Mulinzi yakkirizza okukulira akabinja k’abavubuka abaakwatibwa nga banyaga omuyindi eyali atambulira ku boodabooda n’obukadde 5.
“Yakakasizza nti y’omu ku abo ababadde babbira abantu mu lujjudde emisana ttuku nga bakozesa boodabooda. Bakugoberera okuva ku kyuma kya ATM, abasuubuzi omuli abachina n’Abayindi. Era ekibinja kye kimu ekyagoberera omulamuzi Kamasanyu. Enanga bwe yannyonnyodde.
Poliisi egamba nti Pipikipiki eno gye baakutte y’emu ku zaakozesebwa ku bubbi obwali ku Mawanda Road mu Kampala era baliko n’omuvubuka omulala gwe banoonya amanyiddwa nga Pancho.