Bya Ssemakula John
Kampala
Nnyina w’omwana Amos Ssegawa eyakubwa ab’ebyokwerinda amasasi n’afiirawo, alumbye Palamenti enkya ya leero ng’abanja obwenkanya ku kufa kwa mutabani we. Hajara Nakitto nga ye yali azaala Ssegawa ow’emyaka 15 eyattibwa ab’ebyokwerinda oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Bobi Wine e Luuka mu 2020.
Maama ono Nakitto agamba nti amaliridde okusula ku Palamenti okutuusa ng’afunye omukisa okulaba Pulezidenti Museveni ne Sipiika Kadaga.
Ono alabiddwako n’ebipande okuli ebigambo ebibanja obwenkanya agamba nti poliisi ye yatta mutabani we awataali musango.
Maama Nakitto abadde ne muwala we ow’emyaka 12 alumiriza poliisi okulemwa okumuwa obwenkanya.
Oluvannyuma Poliisi ekuuma ku Palamenti emukkiriza okuyingira munda mu Palamenti wadde tetusobodde kumanya oba asobodde okulaba Sipiika Kadaga nga bw’abadde asabye.
Ssegawa yattibwa mu kwekalakaasa okwaliwo mu mwezi gwa Novemba bwe yali ne Nnyina nga bagezaako okudda ewaka, abawagizi ba Kyagulanyi bwe baali bawakanya okukwatibwa kwe.
Ssegawa yali muyizi ku ssomero lya Ssaabasajja Kabaka erya Lubiri High School (Buloba Campus) era y’omu ku bantu 54 abattibwa mu kwekalakaasa kwa Novemba okwetoloola eggwanga lyonna.
Bangi ku b’enganda z’abantu bano abattibwa bagamba nti bakyalemeddwa okufuna obwenkanya oluvannyuma lw’abantu baabwe okuttibwa awatali musango kuba bangi ku bano baali tebeetabye butereevu mu kwekalakaasa kuno.