Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akuutidde abaami ba Kabaka abaggya okukola buli ekisoboka okukuuma ettaka lya Kabaka eriri mu bitundu byabwe nga bakolaganira wamu n’ebitongole by’Obwakabaka.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu Bulange bw’abadde atikkula Oluwalo lw’obukadde obusobye mu 61 okuva mu ggombolola ez’enjawulo ezikola essaza lya Busiro ku Lwokuna mu Bulange -Mmengo.
“Mbasaba mukuume obugagga bwa Kabaka gyemuli naddala ettaka era temukkiriza kutiisibwatiisibwa. Ettaka ye Nnyaffe tetuyinza kulinda bamale okulirya tulyoke tuzuukuke, mulirwanirire nga mukolagana ne Buganda Land Board. Era njagala okubategeeza nti ng’Omwami wa Kabaka, ggwe mubaka waffe, enteekateeka z’Obwakabaka zitegeere era ozituuse ku bantu b’otwala.” Katikkiro Mayiga bw’abasabye.
Katikkiro Mayiga era abasabye okulwanirira abaami ba Kabaka nga waliwo ebyogeddwa ebikyamu kuba guno guba mulimu gwabwe awatali kwekomomma.
Bano abasiimye olw’okuleeta Oluwalo olw’obukadde obusobye mu 61, abasabye okumanya nti buno buvunaanyizibwa bwabwe era tebageza okugutwala ng’omugugu kubanga okuzza Buganda ku ntikko lulinga olujegere kuba luno terukoowa kutambula.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki annyonnyodde nti buli nteekateeka ebaawo mu Buganda balambikwa wabula ab’e Busiro mu mwaka guno bakyali mu kifo ekisooka mu nsonga y’Oluwalo.
Owek. Kawuki akunze bannabusiro okuwuliziganya n’okutambulira awamu nga bakola emirimu gy’Obwakabaka.
Eyalidde Obwami bw’ eggombolola ya Mumyuka Wakiso, Achilles Muikiibi Sserunjogi, ku lwa banne yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubalondobamu era n’awera okuweereza obutakoowa okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ate omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Ssebwana Charles Kisiriza asiimye Katikkiro Mayiga olw’okubalambika obulungi mu nsonga za mayiro era n’aloopa nga bwe wali ebiwandiiko ebitambula ng’abantu babijjuza ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka ate ng’ensonga eno Obwakabaka tebugimanyiiko.
Yeebazizza Beene olw’okubawa abaami envuumuulo okuweereza nabo nga bano baalaze dda obuwulize bwabwe eri Nnamulondo nga bakunga abantu ba Beene okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka.
Abakiise Embuga kubaddeko; Mituba II- Kakiri, Ssaabawaali Kasanje, Mituba III -Namayumba, Mumyuka Wakiso, Musaale Ssisa, Masuulita Mutuba I, Ssaabaddu Katabi, Ssaabagabo Nsangi, Mutuba IV Lunnyo, Mituba V Lunnyo.
Oluwalo luno lwetabiddwamu abakulembeze b’eggombolola ez’enjawulo, bannabyabufuzi awamu n’abantu ba Beene ku mitendera egy’enjawulo