• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ettaka ye Nnyaffe, tetuyinza kulinda bamale okulirya okuzuukuka – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
November 4, 2021
in Amawulire
0 0
0
Ettaka ye Nnyaffe, tetuyinza kulinda bamale okulirya okuzuukuka – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
77
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akuutidde abaami ba Kabaka  abaggya okukola buli ekisoboka okukuuma ettaka lya Kabaka eriri mu bitundu byabwe nga bakolaganira wamu n’ebitongole by’Obwakabaka.

Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu Bulange bw’abadde atikkula Oluwalo lw’obukadde obusobye mu 61 okuva mu ggombolola ez’enjawulo ezikola essaza lya Busiro ku Lwokuna mu Bulange -Mmengo.

“Mbasaba mukuume obugagga bwa Kabaka gyemuli naddala ettaka era temukkiriza kutiisibwatiisibwa. Ettaka ye Nnyaffe tetuyinza kulinda bamale okulirya tulyoke tuzuukuke, mulirwanirire nga mukolagana ne Buganda Land Board. Era njagala okubategeeza nti ng’Omwami wa Kabaka, ggwe mubaka waffe, enteekateeka z’Obwakabaka zitegeere era ozituuse ku bantu b’otwala.” Katikkiro Mayiga bw’abasabye.

Katikkiro Mayiga era abasabye okulwanirira abaami ba Kabaka nga waliwo ebyogeddwa ebikyamu kuba guno guba mulimu gwabwe awatali kwekomomma.

Bano abasiimye olw’okuleeta Oluwalo olw’obukadde obusobye mu 61, abasabye okumanya nti buno buvunaanyizibwa bwabwe era tebageza okugutwala ng’omugugu  kubanga okuzza Buganda ku ntikko lulinga olujegere kuba luno terukoowa kutambula.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki annyonnyodde nti buli nteekateeka ebaawo mu Buganda balambikwa wabula ab’e Busiro mu mwaka guno bakyali mu kifo ekisooka  mu nsonga y’Oluwalo.

Owek. Kawuki akunze bannabusiro okuwuliziganya n’okutambulira awamu  nga bakola emirimu gy’Obwakabaka.

Eyalidde Obwami bw’ eggombolola ya Mumyuka Wakiso, Achilles Muikiibi Sserunjogi, ku lwa banne yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubalondobamu era n’awera okuweereza obutakoowa okusobola okuzza Buganda ku ntikko.

Ate omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Ssebwana  Charles Kisiriza asiimye Katikkiro Mayiga olw’okubalambika obulungi mu nsonga za mayiro era n’aloopa nga bwe wali ebiwandiiko ebitambula ng’abantu babijjuza ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka ate ng’ensonga eno Obwakabaka tebugimanyiiko.

Yeebazizza Beene olw’okubawa abaami envuumuulo okuweereza nabo nga bano baalaze dda obuwulize bwabwe eri Nnamulondo nga bakunga abantu ba Beene okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka.

Abakiise Embuga kubaddeko; Mituba II- Kakiri, Ssaabawaali Kasanje,  Mituba III -Namayumba, Mumyuka Wakiso, Musaale Ssisa, Masuulita Mutuba I, Ssaabaddu Katabi, Ssaabagabo Nsangi, Mutuba IV Lunnyo, Mituba V Lunnyo.

Oluwalo luno lwetabiddwamu abakulembeze b’eggombolola ez’enjawulo, bannabyabufuzi awamu n’abantu ba Beene ku mitendera egy’enjawulo

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.