Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Minisita w’amawulire n’ensonga za Kabineeti mu Bwakabaka, Owek. Noah Kiyimba ategeezezza nti ensonga ya Mayiro tebeerangako kizibu kya Uganda nga bwe byogerwa abakulu abamu.
Owek. Kiyimba bino abyogeredde ku mbuga enkulu mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bannakyaggwe olusobye mu bukadde 14.
“Wano mu Buganda ow’ekibanja kasita amanya enkolagana ye obulungi ne nannyini ttaka era eno y’ensonga lwaki Ssaabasajja Kabaka yasiima ab’ebibanja beewandiise bamanyibwe era wano mu Buganda tetubangako na nkola ya kugobaganya bantu ku bibanja, kuba babeera bamanyiddwa.” Owek. Kiyimba bw’annyonnyodde.
Minisita Kiyimba ategeezezza nti amateeka agali mu ggwanga galama bulungi naye ekizibu kiva ku banene abagobaganya abantu ku ttaka kyokka ne batafiibwako nga kino kye kirina okunogerwa eddagala so si kuggyawo mayiro.
Ono era afalaasidde abazadde mu kiseera kino ekyomuggalo okulondoola n’okufaayo ku baana baleme okuwaba ng’eno y’engeri enaayamba okukendeeza ku kizibu ky’abaana abafuna embuto nga tebanneetuuka.
“Abazadde mbasaba tutuule n’abaana era tufube okulaba kiki kye bakola buli kiseera. Ebiseera bino wadde abakulu bibasoomooza naye ate abaana kiyitiridde kuba tebalina nnyo byakukola era balina obudde bungi, ekibaleetera sitaani okubakema era n’abafunye obuzibu tubabudebude, baleme kulowooza nti y’enkomerero.” Minisita Kiyimba bw’annyonnyodde.
Owek. Kiyimba akubirizza abazadde okutwala obuvunaanyizibwa okulondoola n’okulabirira abaana baabwe, kibasobozese okusigala ku mulamwa era okubatangira okufuna obuzibu n’okwonooneka.
Mu ngeri yeemu, awadde abantu ba Ssaabasajja amagezi okweyambisa ettaka okwekulaakulanya ky’agambye nti kijja kuyambako n’okulitaasa okutwalibwa bannakigwanyizi.
Minisita Kiyimba era asabye abaami ba Ssaabasajja okufuba okunyweza enkolagana n’abakulembeze mu gavumenti eyaawakati mu bitundu gye baweerereza, basobole okutuusa obuweereza obulungi ku bantu n’Obwakabaka okutwaliza awamu.
Abaami b’eggombolola banjudde alipoota erimu ebituukiddwako kyokka baliko bye baloopye Embuga.
Bannakyaggwe awerekeddwako abakulembeze mu gavumenti eyaawakati era bano baweze okuweereza Ssaabasaaja awatali kumutiiririra.