• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Ettaka lya Mayiro ssi lyerivaako emivuyo-Katikkiro

Gambuuze by Gambuuze
January 27, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Oweek. Charles Peter Mayiga ng’ayogerako eri Olukiiko

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ettaka lya Mayiro ssi lyerivaako emivuyo ku ttaka nga bwebyogerwa abantu abamu. Bwabadde ayogera mu lukiiko lwa Buganda olusookedde ddala mu mwaka Mayiga anokoddeyo ensonga mukaaga z’agambye nti ze ziviiriddeko emivuyo ku ttaka okweyongera.

“Ensonga ye’takka nkulu nnyo bwe tutagiddingana tuyinza okufuna obuzibu. Ensonga zino singa zigonjoolwa, ebizibu by’ettaka bijja kutereera. Poliisi nnafu mu kunoonyereza ku nsonga z’ettaka. Kkooti nnafu mu kulamula ensonga z’ettaka mu budde, era mu bwenkanya, eky’okusatu, okweyongera kw’obungi bw’abantu songa ettaka teryeyongedde. Kino kitegeeza nti enkaayaana zeyongera ate poliisi n’ekkooti nga nnafu,” Mayiga bwagambye.

Mu nsonga endala, Mayiga agambye mulimu  okukaddiwa kw’ettaka, emivuyo mu woofiisi ezikola kunsonga z’ettaka saako n’okuyingiza eby’obufuzi mu nsonga z’ettaka.

“Ekivaako obuzibu si ttaka lya mayiro. Ettaka lya Mayiro libaddewo okuva mu 1900 lwaki tewaaliwo nkayaana zino, lwaki emivuyo gitandise kati. Oli bwajja n’akulimba nti mayiro evaako obuvuyo aba alina ebibye byanoonya era omulamuzi Bamugamereire bweyakola alipoota ey’ekiseera n’agamba nti bajjewo ettaka lya Mayiro n’amugamba nti olimba,” Mayiga bwagambye.

Bamugemereire, yalondebwa okukulira akakiiko akakola ku kunoonyereza ku mivuyo ku ttaka era nga kano gyebuvuddeko kaamaliriza emirimu gyako nga ekirindiriddwa kwe kuwaayo alipoota.

Mungeri y’emu Mayiga era asabye abantu ba Uganda okwewala okwagala obugagga obwamangu. Agambye nti abantu bangi babiddwa mu ngeri eno bangi.

“Ekintu kyonna ekikusuubiza ssente eza amangu oba amagoba amangi olubeerera kibeera kya bulimba kibeera kifu. Musaana okwewala amagendo ne diiru. Oteekwa okubaako ky’otunda oteekwa okubaako ky’osuubula. Obusuubuzi tosobola ku bufunamu nga ebbanga ggwanvu teriyiseeyo; tekisoboka,” Mayiga bweyagambye.

Olukiiko nga lubadde lukubirizibwa sipiika Patrick Luwaga Mugumbule era lufunye alipoota ku nkola ya Namutaayiika, ng’eno eyanjuddwa omumyuka wa Katikkiro asooka Oweek. Twaha Kigongo Kaawaase.

Minisita avunanyizibwa ku by’obuwangwa Kyewalabye Male naye ayanjudde alipoota ku nteekateeka y’okutumbula eby’obulambuzi.

Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma naye ayanjudde enteekateeka y’Obwakabaka ku yinsuwa ya Tubeere balamu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.