
Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Bubiro – Kyaggwe
Eky’obugagga ekisinga obukulu lye ttaka, mulikuume era mulikulaakulanye.
Obubaka buno buweereddwa Minisita w’Obuwangwa, ennono n’obulambuzi, Oweek Dr. Anthony Wamala bw’abadde akyadde ku butaka bw’Ekika ky’e Mpeewo e Bubiro Kyaggwe okulambula emiti egyasimbibwa Minisitule y’Obuwangwa ne Rotary club y’e Bulange omwaka oguwedde.

Eno Oweekitiibwa Wamala ayaniriziddwa Omutaka Mazige ne Bajjajja abakulu b’Amasiga mu kika kino. Oweekitiibwa Wamala yeebazizza nnyo Omutaka Mazige n’olukiiko lwe olw’okulabirira emiti ate n’okugisimba mu ngeri enteeketeeke obulungi egenderera okukuuma obutondebwensi.
Minisita Wamala abategeezezza nti Minisitule y’Obuwangwa eri mu kaweefube w’okulaba nga Ebika bikuuma eby’obugagga byabwo ate n’okubigaziya, era n’abasaba okwongera amaanyi mu kukunga n’okwagazisa abazzukulu ensonga z’Ekika kyabwe kireetewo enkulaakulana eyanamaddala.

Ku lw’Ekika, Omutaka Mazige, Emmanuel Muyenje, yeebazizza nnyo Oweekitiibwa Wamala olw’okubaagala, okubalambika n’obutekkaanya buli lwe bamutuukirira ate n’okubawabulanga ku nsonga ez’enjawulo mu kika kyabwe. Yasabye bazzukulu be okuteeka mu nkola ebyo byonna ebyabalambikiddwa okulaba ng’ekika kyabwe kisigala kitambula ate n’okukulaakulana.


site-verification-ok









