Bya Pauline Nanyonjo
Kasubi – Kyaddondo
Essemero li Kasubi Church of Uganda e Kasubu lijaguzza emyaka 90 mu kusomesa n’okugunjula abayizi b’e ggwangwa wamu n’okutongoza okusonda ensimbi z’okuzimba ekizimbe ekigazi ekimalawo omuwendo gw’abayizi oguzze gweyongera.

Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Bishop Wilberforce Kityo Luwalira y’akulembeddemu okusinza kw’okwebaza n’akubiriza abakulira essomero lino okwongera ku ebyo abatandisi b’alyo bye baakola nga batwala omukululo omulungi n’okwolesa ekifaananyi eky’e kitiibwa kya Katonda olw’omusingi gw’ebaasima.
Omulabirizi Luwalira asabye abazadde okusigaza obuvunaanyizibwa ku baana baabwe baleke kubalekera masomero era bakole ku byetaago ebibasabibwa amasomero nga tebagakumpanyizza kigasobosesa okulinyisa omutindo buli mwaka.

Minisita w’Amawulire, Okukuunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke asinzidde wano n’akubiriza bayizi banne bwe baayita mu masomero g’omu bibuga nga Kasubi COU, agalina obwetaavu obw’enjawulo, okuddayo okugayamba mu by’ensimbi okusobola okugayitimusa gakwate kumirembe emirala.
Ono alaze nti amasomero agali ku musingi gw’ekkanisa ag’enyumirizaamu olw’omusingi gw’e baafunirawo nga kati basobola okugatta ku ggwanga lyabwe mu buweereza obutali bumu.
Omukulu w’essomero lino, Rogers Nambuli asiimye Obwakabaka bwa Buganda olw’okubawonya abasaatuusi ku ttaka nga Buganda yayisa ekiwandiiko ekyali kinyweza obwannannyini bw’e ssomero lino ku ttaka eryo kwe bakkakkalabiza emirimu gyabwe.

Ono asiimye abazadde abakwatagana n’essomero mu byenkulaakulana era ono abasabye okwongera okutambula nabo kulw’obulungi bw’e ssomero lyabwe nga bagunjula omwana w’eggwanga.









