Bya Pauline Nanyonjo
Mpereerwe – Kyaddondo
Bright Adams Junior School lijaguzza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’ebyenjigiriza.

Ekijaguzo kino kiyindidde mu maka g’essomero lino e Mpereerwe, nga kikulembeddwa ekitambiro ky’emmisa ekiyimbiddwa Rev. Fr Deogratious Kiibi Kateregga, n’okuggulawo ekizimbe ekipya, era omukolo guno gukoleddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga abadde omugenyi omukulu, asanyukidde nnyo ekizimbe ekipya n’annyonnyola nti kya kukyusa endaba y’ebintu mu baana era obwongo bwabwe bwakugaziwa okuva ku bintu ebitonotono balowooleze wala basobole okugasa ensi yabwe.
Kamalabyonna eno gy’aweeredde obubaka obusaba bannannyini masomero okugaziya omutindo gw’amasomero gaabwe okwenkana ogwa Bright Stars nga basukka ku ky’okuyita ebigezo kyokka.

Ku nsonga y’ebyenjigiriza, Oweekitiibwa Mayiga annyonnyodde nga bwe biri eby’omuzinzi mu kununula ensi era bwe bikwatibwa n’ekitiibwa, Africa esobola okuva mu nvuba mwetubidde nga bizimba omusingi omulungi ogw’obuntubulamu nekisoboseza abaana abo okubbulula ensi zaabwe nga beeyambisa obuyigirize ne basobola okutegeera ebibayamba.
Omutandisi w’essomero lino Bright Adams junior school, Professor Kasekende Francis alaze nti essomero lino lizze likula okuva mu 2016 mwe lyatandikira, era bayisa bulungi abaana mu Bigezo eby’akamalirizo wamu n’okukulaakulanya endabika y’essomero nga kati basitula kalina.

Agamba nti yadde bayayaanira enkulaakulana ey’omuggundo, tebasuuliridde nkola ya kussa mpisa za buntubulamu mu bayizi okubategekera ensi ebalindiridde.
Minisita w’Enkulaakulana y’abantu ne woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko annyonnyodde nti waliwo obwetaavu bungi obw’amasomero ag’okumpi mu bitundu by’omubibuga kale nga ekiroowozo kya Pulofeesa Kasekende kiyambye abazadde n’abaana bangi abatandisobodde bisulo by’e wala n’abazimbira essomero mu Kampala.
Ekijaguzo kino kyetabiddwako omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Oweek Noah Kiyimba n’abazadde.










