Bya Huzair Jjuuko Wasajja
LUBAGA – KYADDONDO
Essaza ekkulu ery’e Kampala liwezezza emyaka 60 mu kulyowa emyoyo n’okutuusa obuweereza eri abantu.
Mu kujaguza kuno, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aweereddwa omudaali gwa Ssaabasumba Joseph Kiwanuka, olwobuweereza obwesigamye ku nkola y’Obukukisitu, omuli okulwanirira obwenkanya, okwenyigira mu buweereza obuganyula abalala, n’olw’obulungi bwa bonna..Omudaali guno gumunaaninikiddwa mukyala we, Margaret Mayiga.

Ssabasumba Joseph Kiwanuka Nakabaale wamu n’abalala, bebaasima omusingi essaza ekkulu ery’e Kampala kwe litudde. Kiwanuka ye Ssaabasumba w’essaza lino eyasooka nga litandikiddwawo. Nga ojjeeko Katikkiro, abantu abalala 6 baweereddwa emidaali.

Ekitambiro ky’emmisa kikulembeddwa Ssaabasumba w’essaza lino Rt. Rev. Paul Ssemogerere.
My kubuulira, Ssaabasumba abantu okuwuliziganya nga empagi y’okuleetawo obumu n’okwagalana eri abalala.
Akuutidde abakristu okunyweza omusingi guno n’okuteekateeka abato abalitwala kkeleziya mu Maaso.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, agambye ngi mu myaka 60 wabaddewo ekisa kya Katonda olw’ebintu ebingi essaza lye bikoledde abantu era ebintu ebyo byeyolekera mu; masomero, amalwaliro, ebitongole, ne kampuni ebiri ku mutindo era bangi baweereddwa emirimo.
Katikkiro yebazizza Katonda olw’ekirabo ky’abasumba abazze bakulembera essaza lino okusumba abantu nebeeyagalira mu ssaza, ekintu ekijjayo amakulu ddala nti omusumba omulungi amanya endiga ze ate nazo ne zimumanya.
Justine Kasule Lumumba, Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga, akubirizza abazadde okukuza obulungi abaana ate n’abo okufaayo ku kiki kye bayinza okubajjukirako.
Abayizi ba St. Balikuddembe Mitala Maria, be bakulembeddemu ennyimba ezitendereza omutonzi n’okulyowa abantu emyoyo.
Mukyala Emily Kito Mwaka, Ssaabakiristo w’Essaza ekkulu erya Kampala, mu alipoota ye, agambye nti obusobozi bw’essaza buli nnyo mu bakulisito okusaba n’okujjumbira emirimo gya keleziya, ku buli kabondo waliyo obukulembeze obujjudde, ebibiina by’enkola enkatoliki, abakristo balina omutima omugabi, enkolagana wakati w’abasosodooti nnungi ddala, abakirisito bajjumbira nnyo obubondo.










