Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Minisita w’enkulaakulana y’Abantu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, afulumizza enteekateeka z’okukuza olunaku lw’Abakyala mu Buganda.

Enteekateeka eno egyanjudde ayogerako eri akakiiko akateesiteesi. Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, asabye abakyala okwenyigira mu nteekateeka kubanga olunaku lwabwe.
Okusinziira ku Minisita Nankindu, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, ajja kulambula ebikolebwa abakyala mu masaza ag’enjawulo. Mu nteekateeka eno, Nnaabagereka asuubirwa okulambula ebikolebwa abakyala mu Masaza ag’enjawulo, omuli; 24/3/2021, 26 agende e Busujju ate nga 30 yeetabe mu kukubaganya ebirowoozo ku mbeera eteereddwawo ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Mu nsisinkano eno bajja kulaba engeri ekirwadde kino gye kikosezza abaana, abazadde n’amaka awamu n’obutabanguko obuleeteddwa mu maka.
Okusinziira ku Minisita Nankindu, bajja kwekenneenya engeri ekirwadde kino gye kikosezzaamu abantu abaliko obulemu, n’engeri y’okugenda mu maaso wakati mu kusoomoozebwa kwa Covid-19. Oluvannyuma entikko y’emikolo yaakubeerawo nga 31/03/2021 mu bimuli bya Bulange.








