Bya Gladys Nanyombi
Mmengo
Enteekateeka zonna ez’okukuza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda awamu ne Bulungibwansi, ziwedde nga kati ekirindiriddwa y’entikko y’emikolo gino egigenda okubeera mu Lubiri e Mmengo.
Minisita w’ebyobulimi n’obutonde, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, ategeezezza bannamawulire mu Lubiri e Mmengo olwaleero nti, ekifo kiwedde okuyooyootebwa okutuukana n’omukolo.
Okusinziira ku Owek. Mayanja omukolo guno gwa byafaayo kubanga gutegekeddwa mu ngeri ya ssaayansi olw’okutangira abantu ba Kabaka ekirwadde kya Ssennyiga Corona,era nga guli wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Abaami n’obutonde.’
Owek. Mayanja annyonnyodde nti omukolo gugenda kutandika ku ssaawa 4 ez’okumakya naye olw’ekizibu kya Corona, Katikkiro Charles Peter Mayiga yawandiikidde abagenyi abagenda okwetaba ku mukolo guno.
Abantu abalala basabiddwa okugoberera omukolo guno ku BBS Terefayina ne leediyo ya CBS kubanga gigenda kuweerezebwa butereevu.
Minisita Mayanja asabye abantu yonna gye bali okulwanyisa omuze gw’okusaanyaawo obutonde bw’ensi ekivuddeko embeera y’obudde okukyukakyuka olw’okutema emiti.
Owek. Mayanja akunze abantu okweyagalira mu lunaku lwa 8/10 kubanga lwa kitiibwa olw’Ameefuga ga Buganda era nga wano Beene we yasinziira n’aluwaayo eri gavumenti ez’ebitundu ne Bulungibwansi wonna mu Buganda.
Omukolo guno gugenda kwetabwako abantu balubatu nga mu bano mulimu; baminisita b’Obwakabaka, abaami ba Ssaabasajja okuva mu gavumenti ez’ebitundu ne bammeeya ba Kampala ne Wakiso.