Bya Gerald Mulindwa
Enteekateeka z’okujaguza Amatikkira ga Kabaka omulundi ogwa 33 zitambula bukwakku.

Olukiiko oluteesiteesi nga lukulembeddwa Ssentebe waalwo Oweek. Joseph Kawuki, lulambudde ekkanisa bbiri ezasoosowazibwa aba Watoto ministries okunaalondebwa ekifo ekinaasobola okugyayo obulungi ekitiibwa ky’Obwakabaka era nga gukiikirira bulungi ekkanisa za Watoto Minisitries.
Bammemba b’olukiiko balambudde ekkanisa ya Watoto ettabi ly’e Bweyogerere ne Kyengera, era zonna zisangiddwa nga zituukana n’omutindo ogwetaagisa okutegeka omukolo gw’okujjukira amatikkira ga Kabaka.
Oweek Joseph Kawuki, asinzidde mu kulambula kuno ne yebaza ennyaniriza ennungi n’engeri gye balambuziddwamu, n’asanyukira nnyo enteekateeka y’ebifo ennungi, obugazi bwabyo ne engeri gye bakuumye obutondebwensi, era ng’ebifo biyonjo. Agambye nti okusinziira ku kye balabye, abantu ba Kabaka nga bagenze okusinza ku Watoto beegazaanya bulungi kuba Kabaka ayagala nnyo abantu be babeere mu mbeera ennungi ekintu eky’enkizo ennyo mu nteekateeka z’omukolo nga guno.

Oweek Kawuki asinzidde wano n’akunga abantu ba Kabaka mu Bika, eddiini, enzikiriza, mu bibiina, naddala abalokole, bajje mu bungi nga 31 Kasambula, n’asaba Abaami ba Kabaka okuviira ddala ku batongole okutuukira ddala ku b’amasaza balabe nti ebinaalangirirwa biteekebwa mu nkola naddala okuteekateeka amakula n’okukunga abantu beenyigire mu nteekateeka zonna.
Robby Muhumuza, omu ku bakulira Kkanisa ya Watoto ettabi ly’e Kyengera, agambye nti basanyufu olw’okubawa omukisa guno okutegeka omukolo ogw’obuvunaanyizibwa bwe gutyo n’asuubiza Obuganda okuteekateeka omukolo ogubasuubirwamu. Asabye abasumba ba Watoto mu kkanisa ez’enjawulo okubunyisa obubaka buno mu bakkiriza nabo basobole okugwetabamu nga mu bungi.
Omwami w’Essaza Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, ku lw’Abaami b’amasaza, yeyamye nti bagenda kuteekateeka omukolo ogunaawesa Nnamunswa ekitiibwa.
Okusalawo okw’enkomeredde ku kifo ekinaategeka okusaba, kwa kuva mu lutuula lw’olukiiko oluteesiteesi.
Oluvannyuma lw’okulambula, olukiiko lutudde ne lukubaganya ebirowoozo ku nteekateeka we zituuse. Wano obukiiko obw’enjawulo bwogedde we butuuse n’obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa, era Ssentebe w’enteekateeka Oweek. Joseph Kawuki, abasabye bafube okukola alipoota empandiike kiyambeko bammemba okutambulira awamu mu nteekateeka.

Obuganda bukubiriziddwa okwefumiitiriza ku mulamwa gw’okujjukira Amatikkira omwaka guno, ogugamba nti “Tubeere bavumu mu kukuuma obuwangwa bwaffe”.









