Bya Shafik Miiro ne Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku Bavubuka, Eby’emizannyo n’ Ebitone, Owek. Robert Sserwanga ategeezezza nti enteekateeka zonna ziwedde okusalawo ani muwanguzi w’ekikopo ky’ amasaza eky’omwaka 2023.
Okulangirira kuno Oweek. Sserwanga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku nteekateeka z’ekikopo kino.
Oweek. Sserwanga agambye nti fayinolo egenda kuzannyibwa ku Lwomukaaga nga 28/10/2023 ng’eno egenda kuyindira mu kisaawe e Wankulukuku wakati wa Gomba ne Bulemeezi ku ssaawa 9 ez’akawungeezi.
Okusinziira ku Minisita Sserwanga agamba nti wano wajja kusookawo omupiira wakati wa Buddu ne Mawokota nga balwanira ekifo eky’okusatu ku ssaawa ttaano ez’okumakya wabula emiryango giggulwawo ku ssaawa 2 ez’okumakya.
Ono annyonnyodde nti omupiira gwakusasulwa emitwalo 2 ewabulijjo ate abanaatula ekikungu basasule emitwalo 5.
Ono asabye abawagizi okujja mu bungi era n’abasaba okutambula obulungi beewale okuvugisa ekimama n’endiima era bakuume empisa ku makubo.
Minisita yeebazizza abantu bonna abaliko kyebakoze okulaba nti emipiira gino gitambula bulungi omu abavujirizi okuli Airtel Uganda, Centenary Bank, Plascon , UNAIDS BBS Terefayina ne CBS FM.