
Bya Ssemakula John
Kampala
Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano, Steven Tanui ategeezezza nti buli kimu kiwedde okulaba nti abantu ba Kabaka abagenda okumalako awamu n’okuyingira omwaka omuggya ogwa 2023 mu Lubiri e Mmengo basanyukira mu mirembe.
Okwogera bino Tanui abadde mu lukung’aana ab’ebyokwerinda lwebatuuzizza mu Lubiri e Mmengo n’okulambula ebifo byonna awamu n’okubaako ebiragiro byebawa buli kimu okutambula obulungi.
Kino kiddiridde emyaka 2 miramba ng’ekivvulu kino tekitegekebwa olw’ekirwadde ki COVID-19 ekyateeka eggwanga ku muggalo n’okulemesa abantu okukungaana okumalira ddala emyaka 2.
Afande Tanui asabye abantu obutetuikka migugu gigenda kubamalako mirembe nga bayingira kubanga egimu tebaggya kugikkiriza wabula baleete ebintu ebitono obutakaluubirizibwa.

Mu kiseera kino Olubiri luli mu kuyooyootebwa awamu n’okuyonjebwa okusobozesa abantu okuba mu mirembe.
Olukiiko luno lwetabiddwamu Amagye agakuuma Obwakabaka abatwala ebyokwerinda okwetoloola olubiri, nabategesi b’ Enkuuka y’omwaka guano aba Luba Events.
Akulira Luba Events, Moses Lubuulwa agamba nti bategese ekivvulu mu mbeera yabuli omu kwemalako kiwubaalo nenyonta y’Enkuuka gyebabadde nayo emyaka ebiri .
Ye omukungu wa CBS, Godfrey Male Busuulwa ategeezezza nti Enkuuka y’omulundi guno ya njawulo bwatyo nasaba abantu naddala abadigize okusobola okuyingira omwaka 2023 mu ngeri esinga okubeera ennungi.









