• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Enteekateeka z’empiira gy’Ebika ziwedde, Omutanda asiimye okulabikako

Gambuuze by Gambuuze
June 10, 2022
in Amawulire
0 0
0
Enteekateeka z’empiira gy’Ebika ziwedde, Omutanda asiimye okulabikako
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo n’Okwewummuzaamu mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ategeezezza nti enteekateeka zonna  eziggulawo  emipiira gy’Ebika bya Buganda ziwedde era Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuziggulawo ku Lwomukaaga luno e Kasana Luweero mu Bulemeezi.

“Twogera okutegeeza abantu ba Kabaka mwenna nti wasigadde ssaawa busaawa ku nsonga y’okuggulawo emipiira gy’Ebika. Nga bwetwakakasiddwa olunaku lw’eggulo ku ssaawa 7, Katikkiro ajja kutuuka ku kisaawe e Kasana ate ku ssaawa 8 n’eddakiika 20, Ssaabasajja asiimye okulabikako eri Obuganda e Kasana Luweero,” Owek. Ssekabembe bw’ategeezezza.

Okusinziira ku Minisita Ssekabembe mu lutabaalo lwe balimu olw’okuzza Buganda ku ntikko, telugenda kubeera lwangu era tewajja kubeerawo bugobe kutaasa mbeera bwatyo nasaba abantu bonna okuwaayo obudde basobole okwaniriza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka era bafube okubeera mu bisaawe.

Olunaku lw’ eggulo, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Twaha Kaawaase Kigongo yakiggumiza ng’ Empologoma bwegenda okuggulawo empaka zino ng’ekika ky’Embwa kivuganya n’Engo era nategeeza nti gino gibadde gimaze emyaka 2 nga tegizannyibwa olw’ekirwadde ki COVID-19.

Owek. Kaawaase yannyonnyodde nti wakusookawo omupiira gw’okubaka  ku ssaawa 7 ez’emisana wakati w’Embwa n’Engo ate olwo ku ssaawa 9 ez’olweggulo ogw’abasajja gusambibwe.

Ono ategeezezza nti emiryango gigenda kuggulwawo ku ssaawa 4 ez’okumakya nabasaba okukuuma ebiragiro by’abateesiteesi n’ab’ebyokwerinda okusobola okutambuza obulungi enteekateeka eno.

Ye Ssentebe w’olukiiko olutegeka empaka zino, Hajji Sulaiman Magala yeebazizza Bannabulemeezi olw’enteekateeka ennungi gyebakoze era nakunga Abaganda bonna buli omu okugenda awagire ekika kye era babugirize Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Share this:

Tags: Ebika bya BugandaHajji Sulaiman MagalaHenry Ssekabembe KiberuOwek. Twaha Kaawaase KigongoSsaabasajja Kabaka asiimye
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist