Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation (NDF) nga kiri wamu ne Finance Trust Bank, nate kitegese Ekisakaate kya Maama Nnaabagereka, wabula nga ku mulundi guno kigenda kwetabwamu abo bokka abaatuula ebibiina ebyakamalirizo omuli; P.7, S.4 ne S.6 kuba be basinze okusoomoozebwa .
Bw’abadde afulumya enteekateeka zino ku lwa Minisita avunaanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Nankindu Kavuma, mu bimuli bya Bulange olwaleero, Minisita w’ebyamawulire Noah Kiyimba agambye nti ku mulundi guno essira balitadde ku bawummuze.
Minisita Kiyimba agambye nti Ekisaakaate eky’omulundi guno kyakuyindira wansi w’omulamwa “Okukuza bamusaayimuto abajjudde ebinonnoggo, obwekanya n’okwesonyiwa ebintu ebimu nga tukozesa obuntubulamu” era nga kyakubeera mu Bulange Mmengo.
“Maama Nnaabagereka n’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation balabye ng’abawummuze basoomoozebwa era ne balaba nga kigwanidde okubategekera Ekisaakaate kino basobole okubudaabudibwa era mu buufu obwo Ekisaakaate kya luno kyabo bokka abamaliriza ebibuuzo by’akamalirizo.” Owek. Kiyimba bw’agambye
Owek. Kiyimba annyonnyodde nti ku mulundi guno Ekisaakaate kya nsimbi za wansi ng’omwana ajja kuba asasula emitwalo 15 gyokka okumala ennaku 5 nnamba n’asaba abantu okukijjumbira era n’agattako nti okwewandiisa ku mulundi guno kugenda kubeera ku mutimbagano era nga kutandikidde.
Okusinziira ku Minisita Kiyimba olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona, omuwendo gw’abaana tegugenda kubeera munene nnyo nga anaasooka y’ajja kuganyulwa mu nteekateeka eno ate nga tebajja kusulayo ng’enkola bw’ebadde naye baakunonebwangayo olw’eggulo okufaananako omuyizi asoma ng’ava waka.
Kinajjukirwa nti Ekisaakaate kya Nnaabagereka kitegekebwa buli mwaka mu mwezi gwa January (Gatonnya) naye olw’ensonga y’ekirwadde kya Ssennyiga Corona eyataataaganya ebyenjigiriza ne biggalwa wamu n’okukyusa Kalenda egobererwa amasomero, olukiiko olutegese lwasalawo kitegekebwa mu luwummula era kiganyule abayizi abatudde ebibuuzo ebyakamalirizo.