
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda ng’ enteekateeka z’okukuza Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweziwedde.
Okulambulula kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lw’okubiri bw’abadde ayogerako eri bannamawulire.
“Ku Lw’okuna lwa Ssabiiti eno kwegamba okwosa enkya, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, agenda kuweza emyaka 68. Twebaza Katonda amuwadde obulamu era Katonda tumwebaza olw’emirimu gy’amukozesezza mu bbanga eryo,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, kyali kizibu okukkiriza eri abantu abaamulaba nga muto ku Luwangula Primary School, e Buddo awamu ne Bungereza ng’akula, nti yeyali agenda okufuuka Kabaka wakati mwebyo Buganda byeyali eyiseemu.

Owek. Mayiga era yeebazizza abakulembeze mu ddiini ez’enjawulo n’abantu Ssekinoomu olw’okusabira Nnyinimu.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti neku mulundi guno omukolo gw’Amazaalibwa gugenda kubeera mufunda naye nga gwa kitiibwa era gujja kutandika n’okusaba okunaakulirwa Abadiventi.
Ono agamba nti wajja kubaawo ebisanyusa era obuvunaanyizibwa buno bukulirwa Owek. David Mpanga ng’ayambibwako Owek. Dr. Prosperous Nankindu, Owek. Joseph Kawuki awamu ne minisita Noah Kiyimba.
Katikkiro Mayiga alambuludde nti ku Ssande nga 16, Nnyinimu ajja kuwuubira abantu ku misinde gy’ Amazaalibwa era nga basuubira nti gino gyakwetabwamu abantu emitwalo 10.
Mukuumaddamula ategeezezza nti omulamwa gukyali ku byabulamu naddala Mukenenya ng’Abaami be basaale mu lutalo luno okusobola okutaasa abaana ab’obuwala era guno gukyagendera ddala mu maaso okumala emyaka emirala 3 negiwera emyaka 6.
Akulira akakiiko akateekateeka Amazaalibwa gano era minisita w’emirimu egy’enkizo, David Mpanga ategeezezza nti abantu abayite bali 250 bokka era bano abasabye batandike okutuuka ku ssaawa 4 n’ebbaluwa zaabwe.
Owek. Mpanga annyonnyodde nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka ajja kutuula ku Nnamulondo ku ssaawa 6 era ajja kwanirizibwa abasanyusa abazina amaganda.
Ono agasseeko nti waliwo essaala entongole era eno egenda kulemberwa Ssaabalabirizi w’ekkanisa y’ Abadiventi. Mpanga agamba nti Omutanda ajja kugabula Obuganda n’ekijjulo kya kkeeki awamu n’eky’emisana era omukolo gwakumala ssaawa emu n’ekitundu.
Eri abantu abatayitiddwa mu Lubiri, Owek. Mpanga abasabye okugoberera nga bayita ku BBS Terefayina awamu n’emikutu gy’Omutimbagano.
Enteekateeka ziwagiddwa Airtel; CBS FM; BBS Terefayina; DFCU Bank; Vision Group; Amazzi ga Nivana, n’abalala.









