
Bya Francis Ndugwa
Lubiri – Mmengo
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emikolo gy’okujjukira bwegiweze emyaka 30 nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alamula Obuganda, Owek. David Mpanga ayanjudde enteekateeka zonna nga bweziri.
Enteekateeka zino, Owek. Mpanga azanjulidde bannamawulire leero ku Lwokusatu bw’abadde azirambulula mu Lubiri e Mmengo.
Ssentebe Mpanga agambye nti ebikujjuko ebikulembera Amatikkira byatandika ku Ssande ewedde n’omukolo Katikkiro kweyatongoleza empaka z’omuzannyo gwa ‘Golf’ ezayindira ku Golf Club, e Kitante mu Kampala.
Okusinziira ku Mpanga, basuubirwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka okuggulawo ennyumba ez’okugula e Ssentema ku nsimbi entonotono mu Mirembe Villas, ku Lwokutaano luno nga 28 July, 2023.
Owek. Mpanga ategeezezza nti wajja kubaawo okusabira Obuganda nga ku Lwokutaano luno abasiraamu ab’enjawulo abaneetaba mu kusaala Juma ku mizikiti bakusabira Obuganda ne Ssaabasajja Kabaka.
Olwo ku Lwomukaaga nga 29, Abadiventi nabo basabira Beene ate ku Ssande nga 30 Ekeleziya ne Kkanisa zonna mu Buganda baakusabira Omutanda.
Ate ku Mmande nga 31, entikko y’omukolo guno ebeere mu Lubiri e Mmengo okuva ku ssaawa 2 ez’okumakya okutuuka ku ssaawa 8 ez’olweggulo.
Owek. Mpanga akoowoodde abantu okujja mu bungi, okubugiriza Omutanda, kyokka abataasobole kujja abasabye okugoberera emikolo ku mikutu gy’amawulire, gyonna.
Ye Minisita w’Olukiiko, Amawulire, Abagenyi, era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba, asabye ekitongole ky’amasannyalaze mu ggwanga, ekya UMEME, obutajjaako masannyalaze kw’olwo, okusobozesa abantu okugoberera enteekateeka eno, n’akubiriza n’abo abanajja mu Lubiri okukkiriza okwazibwa olw’ebyokwerinda.
Ku lwa Ssentebe wolukiiko oluteesiteesi Owek. Daudi Mpanga, Owek Amis Kakomo omu ku batuula ku lukiiko luno agamba nti enteekateeka kumpi ewedde era akoowodde abantu okujja mu bungi.









