• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Enteekateeka z’Amatikkira ga Beene aga 31 zifulumye

Gambuuze by Gambuuze
July 16, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Enteekateeka z’Amatikkira ga Beene aga 31 zifulumye
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Bulange – Mmengo

Ssentebe w’Olukiiko olukulembeddemu okuteekateeka Amatikkira g’Omwaka guno  nga Beene ajaguza emyaka 31 ku Nnamulondo, Owek. Dr. Anthony Wamala afulumizza enteekateeka nga bwezigenda okutambula okwetoloola amasaza gonna.

Owek. Wamala ategeezezza bannamawulire mu Bulange e Mmengo nti Amatikkira gano gakutambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Obumu bwaffe gemaanyi ga Nnamulondo” era ebikujjuko byakubeera mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo.

Wamala annyonnyodde  nti ebimu kubinaakolebwa mulimu Bulungibwansi mu masaza gonna nga ono e Buddu yakoleddwa ku Lwakutaano nga yakuliddwamu Ppookino Jude Muleke.

Ku Lwokusatu nga 17 bajja kuggulawo mubutongole ekkadiyizo netterekero ly’ebitabo ku kitebe ky’ebyobulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board ku Butikkiro n’okuggulawo amalwaliro g’Obwakabaka nga batandikira Nsangi ne Kalasa mu Bulemeezi.

Owek. Wamala agasseeko nti nga 24 July 2024 baakujaguza emyaka 25 egya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mmengo n’omusomo ogwa bonna ogusimbiddwa ku mulamwa gw’Amatikkira g’omulundi guno.

Ate nga 26, July ku Lwokutaano wabeewo okusaala mu mizikiti gyonna okwetoloola Obuganda nga abeenkizikiriza y’Abayisiraamu basabira Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka, Allah amuwe obulamu obulungi.

Ku Lwomukaaga nga 27 wabeewo okusaba mu kkanisa z’Abadiventi okwetoloola eggwanga nga nabano bajja kwongera okusabira Beene.

Owek. Wamala agamba nti ku Lwokumakaago luno era ku bisaawe byonna ewanazannyirwa emipiira gy’Amasaza wajja kubaawo akaseera  ak’okujjukira Amatikkira g’omulundi guno.

 Ku Ssande nga 28 wakubeerawo okusaba mu Ekleziya n’Ekkanisa  ez’enjawulo  okwongera okuteeka Nnyinimu mu mikono gya Katonda.

 Okusinziira ku Wamala era wajja kubeerawo empaka z’omweso ate ku Ssande nga 30 wabeewo omusomo ku bumu okwetoloola amasomero gonna mu Buganda era wajja kubaawo abavubuka ababangula abayizi ku nsonga eno.

Ebikujjuko bino bya kufundikirwa ng’okusaba okwenjawulo ku Lutikko ya Paulo e Namirembe nga 31 era nga abantu bonna banirizibwa mu kusaba kuno.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu baminisita ab’enjawulo okuli Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko n’abakungu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist