Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Ssentebe w’Olukiiko olukulembeddemu okuteekateeka Amatikkira g’Omwaka guno nga Beene ajaguza emyaka 31 ku Nnamulondo, Owek. Dr. Anthony Wamala afulumizza enteekateeka nga bwezigenda okutambula okwetoloola amasaza gonna.
Owek. Wamala ategeezezza bannamawulire mu Bulange e Mmengo nti Amatikkira gano gakutambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Obumu bwaffe gemaanyi ga Nnamulondo” era ebikujjuko byakubeera mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo.
Wamala annyonnyodde nti ebimu kubinaakolebwa mulimu Bulungibwansi mu masaza gonna nga ono e Buddu yakoleddwa ku Lwakutaano nga yakuliddwamu Ppookino Jude Muleke.
Ku Lwokusatu nga 17 bajja kuggulawo mubutongole ekkadiyizo netterekero ly’ebitabo ku kitebe ky’ebyobulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board ku Butikkiro n’okuggulawo amalwaliro g’Obwakabaka nga batandikira Nsangi ne Kalasa mu Bulemeezi.
Owek. Wamala agasseeko nti nga 24 July 2024 baakujaguza emyaka 25 egya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mmengo n’omusomo ogwa bonna ogusimbiddwa ku mulamwa gw’Amatikkira g’omulundi guno.
Ate nga 26, July ku Lwokutaano wabeewo okusaala mu mizikiti gyonna okwetoloola Obuganda nga abeenkizikiriza y’Abayisiraamu basabira Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka, Allah amuwe obulamu obulungi.
Ku Lwomukaaga nga 27 wabeewo okusaba mu kkanisa z’Abadiventi okwetoloola eggwanga nga nabano bajja kwongera okusabira Beene.
Owek. Wamala agamba nti ku Lwokumakaago luno era ku bisaawe byonna ewanazannyirwa emipiira gy’Amasaza wajja kubaawo akaseera ak’okujjukira Amatikkira g’omulundi guno.
Ku Ssande nga 28 wakubeerawo okusaba mu Ekleziya n’Ekkanisa ez’enjawulo okwongera okuteeka Nnyinimu mu mikono gya Katonda.
Okusinziira ku Wamala era wajja kubeerawo empaka z’omweso ate ku Ssande nga 30 wabeewo omusomo ku bumu okwetoloola amasomero gonna mu Buganda era wajja kubaawo abavubuka ababangula abayizi ku nsonga eno.
Ebikujjuko bino bya kufundikirwa ng’okusaba okwenjawulo ku Lutikko ya Paulo e Namirembe nga 31 era nga abantu bonna banirizibwa mu kusaba kuno.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu baminisita ab’enjawulo okuli Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko n’abakungu abalala.