• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Enteekateeka za Ttabamiruka w’Abakyala ziwedde, Nnaabagereka Nagginda yagenda okuluggulawo

Gambuuze by Gambuuze
April 24, 2024
in Amawulire
0 0
0
Enteekateeka za Ttabamiruka w’Abakyala ziwedde, Nnaabagereka Nagginda yagenda okuluggulawo
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Bulange  – Mmengo

Minisita wa Bulungibwansi, Obutonde Bw’ensi Amazzi  n’Ekikula y’Abantu ne Wofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, atongozza enteekateeka za Ttabamiluka w’ Abakyala mu Buganda ow’omwaka 2024 ng’ono agenda kubeera mu Lubiri e Mmengo.

Owek. Mayanja Nkalubo enteekateeka zino azitongoleza mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nategeeza nti Ttabamiruka ono wakubaawo omwezi ogujja nga 15 era Nnaabagereka Sylvia Naginda yagenda okumugulawo.

Minisita Nkalubo annyonnyodde nti Ttabamiruka ono wakuyindira wansi w’ omulamwa ogugamba nti, ‘Abakyala bankizo mu nkulaakulana eyanamaddala’ nga mukino  essira lyakuteekebwa ku makubo ag’enjawulo abakyala gebasobola okufunamu ensimbi n’okwekulaakulanya.

Mu kino bano bagenda kubangulwa ku ngeri gyebasobola okufuna ensimbi za gavumenti, okusomesebwa ku misolo, enkola eya Yinsuwa, enkuza y’omwana omulenzi, enyingiza mu maka saako n’ensonga endala nnyingi.

Owek.  Nkalubo ategeezeza nga Ttabamiruka ono bwagenda okwetabwamu abakugu mu by’obulamu, ebyenfuna, amateeka,  aba Yinsuwa nabalala bangi era nga kkaadi zakugulwa ku mitwalo 4 gyokka buli emu.

Ono era akunze bannamikago abenjawulo, omuli ebibiina by’abakyala nabakwatibwako ensonga z’abakyala  okwetaba mu nteekateeka za Ttabamiruka ono okusobola okubayambako mu lugendo lw’ enkulaakulana.

Ssentebe wa Ttabamiruka ono,  Dr. Sarah  Nkonge Muwonge asabye abakyala okugula kkaadi zino nga bukyali nokwetaba mu Ttabamiruka w’omwaka guno okusobola okubaako byebayiga nokutumbula embeera zabwe.

Dr. Nkonge annyonnyodde nti okuyita mu nteekateeka eno abakyala bakwongera okumanya engeri obuwangwa gyebusobola okukozesebwa okutumbula eddembe lyabwe.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu abantu abenjawulo okuli Owek. Robina Magezi,Omukungu Agnes Nabulya Nkugwa, omukungu Agnes Kimbugwe nabalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist