Aba minisitule y’ebyobulamu beeraliikirivu olwensaasaana y’ekirwadde kya Covid-19 naddala mu Kampala ekiviiriddeko abantu babiri okutwalibwa mu kasenge k’abayi kayite Intesinve Care Unit.
Newankubadde ng’eggwanga lirina abalwadde 1,140, ab’ebyobulamu batidde kubanga abalwadde abo ababiri basangiddwa mu bifo ebitabaddemu Covid-19 mu nga Kisenyi II mu Muluka gw’e Mengo wamu ne Lubaga.
Minisita w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng yagambye batandise kaweefube w’okukebera abantu mu kitundu kino era nga woosomera bino nga abantu 75 abaasembererako abalwadde abo baamaze dda okuzuulibwa ekibinja ky’abakugu okuva mu minisitule wamu n’ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya KCCA.
Abakugu mu minisitule era balagaidde eddwaliro ly’e Lubaga ne Mengo abalwadde gyebaatwaliddwa mu busenge bwa bayi okubuggala.
Dr Henry Kajumbura, akulira okuziyiza eddwadde mu minisitule yagambye kino kyakoleddwa okusobola okuziyiza obulwadde okusaasaana.
Wosomera bino nga abantu 54 bebazuuliddwamu obulwadde buno mu Kampala.
Aba minisitule n’olwekyo bazzeemu okukuba omulanga eri abantu obuteerabira kunaaba mu ngalo, okwambala obukookolo, wamu nokwewala ebifo ebirimu abantu abangi.
Dr Misaki Wayengera, omukugu mu nddwadde ezisiigibw ayagambye nti singa Bannayuganda tebeddako, Uganda egande kutuuka mu kaseera akakatyabaga ng’ekirwadde kisaasaanidde buli wamu.